Amawulire

Pulezidenti wakwogerako eri eggwanga olwaleero

Ali Mivule

June 4th, 2015

No comments

Museveni speaks

Palamenti eddamu okutuula olwaleero oluvanyuma lw’oluwummula olw’ennaku 2 nga era ababaka betegese kuwuliriza omukulembeze w’eggwanga byazze nabyo olwaleero.

Okwogera kuno kwekukulemberamu okusomwa kw’embalirira y’eggwanga nga era kunokolayo pulojekiti ez’enjawulio ezizze zikolebwa.

Mu kwogerakwe eri eggwanga omwaka oguwedde, pulezidenti Museveni y’ategeeza nga gavumenti bw’egenda okuteeka essira ku by’obulimi amakolero ne tekinologiya.

Wabula abantu ab’enjawulo bazze babuuza ebibuuzo ku bisuubizo ebimu abitaatukirizibwa.

bbo ab’ekibiina kya DP tebasuubira kyamanyi mu kwogera kw’omukulembeze w’eggwanga eri bannayuganda okwokubeerawo olwaleero.

Pulezidenti Museveni wakwogera wa eggwanga welituuse ku by’enkulakulana

Ssabawandiisi w’ekibiina kya DP  Matthias Nsubuga agamba pulezidenti wakudda mu byazze ayogera nga enguudo n’okugaba amasanyazee kale nga tebasuubira kipya kyonna.

Nsubuga agamba bandiyagadde okuwulira pulezidenti Museveni nga ayogera ku ky’okulwanyisa obwavu n’enteekateeka z’okulonda kwa 2016.

 

Ku ssaawa 8 ez’emisana pulezidenti Museveni asuubirwa okwogerako eri eggwanga ku by’enfuna webituuse ne wa gavumenti wetuuse mu kukulakulanya eggwanga.