Amawulire

Omulamazi afudde

Ali Mivule

June 3rd, 2015

No comments

NAMUGONGO FULL 2

Waliwo omulamazi afudde

Beatrice Birungi ow’emyaka 45 yoomu kw’abo 20 abazirise olw’ekiziyiro ku biggwa by’abajulizi e Namugongo

Birungi yatambudde okuva e Mukono olunaku lwajjo era olwaleero neyetaba mu kusaba.

Ab’enganda ze bagamba nti emisa ebadde egenda mu maaso, omukyala ono n’ategeeza nga bw’abadde awulira kamunguluze era ekizzeeko kuzirika nebamuddusa mu ddwaliro e Mulago

Bbo abe Mulago bataddewo akasenge  ek’enjawulo nga katuukiramu bakoseddwa e Namugongo era ng’abasawo bali bulindaala

Bbo ab’ekibiina kya Redcross bagamba nti bakajjanjaba abantu abawera 3060

Jorama Musinguzi okuva muredcross agama nti ebbugumu erisusse lyeriviiriddeko abantu okuziyira are nga n’abamu tebalina mazzi ga kunywa

Agambye nti okuva bbalaza, bakakola ku bantu 12000

Bbo bannayuganda basabiddwa obutatunda kalulu kaabwe mu mwaka 2016

Ssabalabirizi wa kkanisa ya Uganda rev Stanley Ntagali y’akoze okusaba kuno

Ng’ayogerako eri abakkiriza, Ntagali agambye nti bannayuganda basaanye okwetaba butereevu mu nsonga z’okulonda kyokka nga tebabaguze

Ntagali agamba nti okutunda akalulu kuba kwetunda mutima