Amawulire

Eyatta bakazi be naye wakuttibwa

Ali Mivule

June 2nd, 2015

No comments

Justice

Kkooti ejulirwaamu eremezzaawo akalabba eri omusajja eyatta bakyala be babiri.

Abalamuzi abasatu abatuula mu kkooti eno okuli Remmy Kasule, Faith Mwondha ne Richard Buteera bakkiriziganyizza n’okusalawo kw’omulamuzi wa kkooti ye Masaka Vincent Kibuuka Musoke nti omusajja ono asana kuttibwa

Abalamuzi bakakasizza nti omwana omuto ow’emyaka 15 eyalaba kitaawe ng’atta bakazi ne tasobola kuba nga yalimba

Omwana ono eyaleetebwa mu kkooti yategeeza nga bweyalaba kitaawe ng’akozesa ejjambiya okutta nyina ne nyina omuto

Omuvunaanibwa Stephen Turyamwijuka owe Lyantonde yeeyatta bakyala be Dina Kekigombe ne Maria Bashabe oluvanyuma lw’okufuna obutakkaanya nabo.

Bano okutuuka ku kino, Omusajja yali akuba mukyala we omukulu, omuto n’agezaako okutaasa olwo bonnan’abatemateema okukkakkana ng’abasse.

Omusajja ono yali ajulidde ng’agamba nti tewaliiwo bujulizi bulaga nti yadde bakyala be baafa, teyabatta kyokka nga poliisi eyasooka okumukunya egamba yenna yali avulubanye omusaayi era nga bweyabuuzibwa, yakkiriza nti yali asse bakyala be