Amawulire

Abavuganya bazze na kapya

Ali Mivule

May 28th, 2015

No comments

M7 stop

Bannabyabufuzi ab’oludda oluvuganya gavumenti batongozza kawefube omujja ow’okubanja enongosereza mu mateeka g’ebyokulonda.

Kawefube omujja atuumiddwa komya omuzanyi okubeera diifiri era kapiteni nga agendereddwamu kumanyisa bannayuganda nti omukulembeze w’eggwanga nga naye agenda kwesimbawo ku bwapuklezidenti neera ate y’alonda abakulira akakiiko k’ebyokulonda.

Kawefube ono akulembeddwamu loodi meeya wa Kampala  Erias Lukwago nga era abali mu kino bagamba baagala kusisismula bannayuganda bateeke ababaka baabwe ku ninga bagaane enongosereza ezaleteddwa gavumenti.

Lukwago agamba bakutalaaga eggwanga lyonna nga bamanyisa bannayuganda obukulu bw’okufuna enongosereza mu mateeka g’ebyokulonda nga okulonda kwa 2016 tekunatuuka.

 

Abavuganya gavumenti n’abebibiina byobwanakyewa bazze bategeeza nti eggwanga okuba n’okulonda okwamazima enongosereza mu mateeka g’ebyokulonda zirina okuteekebwa mu nkola.

 

Ezimu ku nongosereza kwekubeera n’akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde nga tekalondebwa mukulembeze w’eggwanga.