Amawulire

Abakozi mu gavumenti beetabe mu byobufuzi- NRM

Ali Mivule

May 28th, 2015

No comments

NRM CEC agrees

Ab’ekibiina kya NRM baagala ababaka ba palamenti abatalina bibiina bawerebwe.

Ekiteeso kino bakiwaddeyo eri akakiiko ka palamenti akakola ku bbago ly’etteeka mu nonngosereza za ssemateeka w’eggwanga.

 

Nga bakulembeddwamu amyuka ssabawandiisi w’ekibiina kino Richard Todwong, bategezezza nga abatalina bibiina bwebanafuya enkola y’ebyobufuzi ey’ebibiina ebingi.

 

Bano era baagala Kati buli asala okuva mu kibiina ekimu okudda mu kirala nabo bafiirwe ebifo byabwe okugyako omukulembeze w’eggwanga.

 

Mu birala era baagala ssemateeka akyusibwe abakozi ba gavumenti nabo beetabe mu by’obufuzi kubanga kati eddembe lyabwe eryokukulembera lituuliddwako.

 

Wabula ekiteeso kyabwe kivulugiddwa ababaka abatalina bibiina nga bakulembeddwamu omubaka Gerald Karuhanga bw’ategezezza nga ssemateeka bw’abawa obuyinza okwesimbawo nga tebali mu kibiina kyonna.