Amawulire
Besigye akwatiddwa, kabuyo mu kibuga
Eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye akwatiddwa.
Besigye akwatiddwa ne dereeva we bwebabadde boolekera e Wankulukuku awabadde olukungaana lw’abavuganya ku nongosereza mu mateeka
Poliisi ekozesezza eryaanyi okwasa endabirwaamu y’emmotoka ya Besigye ey’emabega olwo n’ekubamu ttiyagaasi nga tennabasikambula mu motoka munda
Mu kavuvungano kano, abawagizi ba Besigye batandise okuyiika olwo omukka ogubalagala negulamula n’amasasi mu bbanga.
Twogeddeko era n’atwala abakyala mu FDC Ingrid Turinawe ategeezezza nga bwebatakoze musango gwonna nga babadde batambula gaabwe
Turinawe ku Besigye lug
Kawefube w’okufuna abakulu mu poliisi egudde butaka