Amawulire
Omubaka Karuhanga bamuwangudde mu kkooti
Omubaka wa palamenti ow’abavubuka mu bugwanjuba bw’eggwanga Gerald Karuhanga asaanye okwongera okukola enyo oluvanyuma lw’omusango gweyawaaba nga awakanya eky’okulondebwa kwa Steven Kavuma ku bw’omumyuka bwa ssabalamuzi w’eggwanga okumumegga.
Kkooti enkulu eragidde Karuhanga asasule ensimbi zonna ezisasanyiziddwa Kavuma nga amutwala mu kkooti ku nsonga ezitaliimu.
Omulamuzi Steven Musota agobye okusaba kwa Karuhanga kweyayisa mu munnamateekawe Eron Kiiza nga ayagala okulaba ku mpapula ezikwata ku kulondebwa kwa Kavuma ku bw’amyuka ssabalamuzi w’eggwanga.
Musota ategezezza nga omusango omulala gwebaawawabira Kavuma bweguli mu kkooti yokuntikko sso nga kkooti enkulu eri wansi waayo kale nga eri tebayinza kuweerayo biragiro okuleeta ebiwandiiko bino.