Amawulire
Abavuganya gavumenti batabukidde Poliisi
Ab’oludda oluvuganya gavumenti bategezezza nga poliisi okukibateekako nga bwebapangisa bamalaaya bagyeyambulire bwekiswaza.
Wiiki ewedde aduumira ebikwekweto bya poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi y’ategeeza nga abavuganya gavumenti bwebapangisa bamalaaya nebagyeyambulira buli lwevagenda okubakwata.
Kino kyaddirira poliisi okukwata Nalongo Hamida nga akasaaniko era n’ategeeza nga bwebaamwambula engoye.
Ssenkagale w’ekibiina kya JEEMA Asuman Basalirwa agamba ebigambo nga bino tebisaana kuva mu kamwa kamuserikale wa ddaala lyawaggulu nga Kaweesi era kiraga butaba nabukugu.