Amawulire
Abasibe basusse obungi
Alipoota efulumiziddwa eraga nti abantu bangi abakwatibwa tebatwalibwa mu kkooti mu budde ekisssa omugugu ku muwi w’omusolo. Alipoota eno evudde mu kuonyereza okukoleddwa aba Independent Development Fund ng’abasibe abasing bayisa ennaku ebbiri ezoogerwaako omuntu okutwalibwa mu kkomera. Okunonyereza kuno kutunuulidde amakomera 253 ng’abasibe 16,517 beebatunuuliddwa. […]
Omukozi abadde akabasanya omwana
Waliwo omukyala wa myaka 22 akwatiddwa ng’akabasanya akaana akalenzi ka myaka etaano. Christine Nakato ng’abeera Walufumbe e Kyanja y’abadde Akaka akaana kano okumukozesa mu nsonga z’omukwano Nakato mukozi wa waka era nga kigambibwa okuba nga abadde akozesa akakisa nga bakadde b’omwana tebaliiwo, n’amulagira okumumalako enyonta […]
Teri besimbyeewo kufuna ssente- beebajja okuwaayo
Palamenti esazeewo nti teri kuddamu kuwa Muntu yenna yesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga yadde ekikumi. Ekiteeso kino kireeteddwa omubaka we Aruu Odonga Otto era nekiwagirwa ababaka abawera. Otto agambye nti omuntu yenna w’atuukira okwesimbawo ateekwa okuba ng’ensawo ye ewera kale nga tebalina kubajinya nti babakwasizzaako. Mu […]
Gavumenti yakujulira
Gavumenti emaze okussaayo okusaba nti okussa mu nkola ebyasaliddwaawo kkooti etaputa ssemateeka ku ky’ababaka b’abavubuka, abakozi n’abamaggye kuyimirizibwe Ssabawolereza wa gavumenti omukulu Fredrick Ruhindi agambye nti kituufu nti tewali mateeka malambulukufu ku ngeri bano gyebalondebwaamu kyokka nga byonna bisobola okukolebwaako. Ruhindi era atangaazizza nti ssi […]
Okusobya ku baana kususse
Ab’obuyinza mu disitulikiti ye Lwengo balaze okutya olw’emisango gy’okusobya ku baana egyeyongedde. Obubaka bwatikiddwa omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti Richard Mwanje Ntulumenaye abitegezezza bannamawulire ku ofiisi ye. Ntulume agamba ekisinga okwenyamiza kwekuba nti absomesa ba pulayimila bebamu ku basinga okuzza emisango gino. Ategezezza nti mu […]
Abalwanyisa enguzi bawagidde okugoba abakozi
Ab’ekibiina ekirwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga ekya Anti-Corruption Coalition in Uganda kitenderezza nyo akulira ekitongole ky’ebyenguudo mu ggwanga Allen Kagina olwokuyiwa abakozi bonna okutereezza empeereza y’emirimu. Olunaku lweggulo abakozi abasoba mu 800 bagobeddwa nga kigendereddwamu kulwanyisa buli bwanguzi mu kitongole. Akulira ekibiina kino Cissy Kagaba […]
Bataano bafudde ebitategerekeka
Minisitule y’ebyobulamu esindise ekibinja ky’abasawo mu disitulikiti ye Buliisa okunonyereza ku kirwadde ekitanategerekeka ekyakatta abantu kati bataano. Abasawo bagamba nti abagenzi baabadde n’omusujja ogwamanyi nga basesema musaayi wamu n’okuddukana omusaayi . Akulira eddwaliro lye Buliisa Hannington Tibaijuka ategezezza nga abakwatiddwa ekirwadde kino bwebagiddwako omusaayi nga […]
Seya alondeddwa buto- bagaanye okumuwandiisa
Akulira ekibiina kya Liberal Democratic Transparency Party Al-haji Nasser Ntege Ssebaggala azzeemu okuwangula entebe y’ekibiina kino wakati mu kuwakanyizibwa okuva eri ekibinja ekisimbira ekkuli obukulembeze bwe. Sebaggala ayiseewo nga tavuganyiziddwa oluvanyuma lw’abadde amwesimbyeeko Mansoor Nera okuvaamu n’amulekera Ssebaggala akozesezza akakisa kano okukyuusa akabonero k’ekibiina nga […]
Mbabazi avumye abamulumba- aba FDC baanukudde
Eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi agamba nti abamulumiriza okugula ebibiina okumuwagira bamusibako matu ga mbuzi okumuliisa engo. Kiddiridde ebibadde biyitingana nti Mbabazi yagulirira aba DP, aba Uganda Federal Alliance ne SDP okumuwagira ku ky’okukwata bendera y’omukago gw’abavuganya. Mbabazi ng’awayaamu ne bannamawulire agambye nti […]
Aba NRM bazzizzaayo foomu
Ab’ekibiina kya NRM bazizzaayo foomu z’omuntu waabwe okusunsulwa okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga omwaka ogujja Bano foomu bazitadde mu bi failo olwo nebabissa mu bikuleeti okulaga nti gibadde mingi ddala. Omuwanika w’ekibiina kya NRM Rose Namayanja agamba nti bawaddeyo emikono egisoba mu mitwalo 60 okuva mu […]