Amawulire

Omukozi abadde akabasanya omwana

Omukozi abadde akabasanya omwana

Ali Mivule

September 30th, 2015

No comments

File Photo: Kooti Enkulu eya Uganda

File Photo: Kooti Enkulu eya Uganda

Waliwo omukyala wa myaka 22 akwatiddwa ng’akabasanya akaana akalenzi ka myaka etaano.

Christine Nakato ng’abeera Walufumbe e Kyanja y’abadde Akaka akaana kano okumukozesa mu nsonga z’omukwano

Nakato mukozi wa waka era nga kigambibwa okuba nga abadde akozesa akakisa nga bakadde b’omwana tebaliiwo, n’amulagira okumumalako enyonta mu mukwano

Omuwala ono asibiddwa mu kkooti kyokka takkiriziddwa kubaako na ky’enyega kubanga omusango gw’aliko gwa naggomola

Kati wakudda mu kkooti nga 22 omwezi ogujja nga n’okunonyereza bwekugenda mu maaso.