Amawulire

Abasomesa beweredde gavumenti

Abasomesa beweredde gavumenti

Ali Mivule

October 1st, 2015

No comments

Abasomesa balayidde obutakkiriza bakungu mu minisitule ya bya njigiriza ku mikolo gyaabwe egy’abasomesa. Emikolo gino gya nga ttaano omwezi guno nga gyakutambulirura ku mulamwa ogugamba nti sanyusa omusomesa ozimbe eggwanga. Ssabawandiisi w’omukago gw’abasomesa James Tweheyo agambye nti abakulu bano baalya ensimbi z’abasomesa era tewali nsonga […]

Ensimbi z’ababaka zisigaleyo- ababaka abamu

Ensimbi z’ababaka zisigaleyo- ababaka abamu

Ali Mivule

October 1st, 2015

No comments

Ekiteeso kya palamenti okwongeza ensimbi ezisasulwa abesimbawo okukiika mu palamenti kikyajjamu abantu omwasi. Olunaku lwajjo, palamenti yasazeewo nti buli ayagala okufuuka omubaka alina okusasula obukadde busatu okuva ku mitwalo abiri agabadde gasasulwa Ababaka okuli Lulume Bayiga,Hassan Caps Fungalo ne Simon Mulongo bagamba nti kino kigenda […]

Musasule ababanja bonna- Kagina

Musasule ababanja bonna- Kagina

Ali Mivule

October 1st, 2015

No comments

Akulira ekitongole ky’enguudo ekya UNRA Allen Kagina alagidde nti abantu bonna abakosebwa okugaziya oluguudo lwa Northern Bypass basasulwe mu bwangu. Ng’alambula oluguudo luno oluli mu kukolebwa, Kagina agambye nti bano abawadde emyezi ebiri okusasula abo bonna abagenda okukosebwa olwo omulimu gutambula nga tewali kusibamu. UNRA […]

Munyagwa ajulidde

Munyagwa ajulidde

Ali Mivule

October 1st, 2015

No comments

Meeya we Kawempe Mubarak Munyagwa asimbiddwa mu kkooti gy’awerennemba n’emisango gy’okunyooma ebiragiro ebiri mu mateeka. Munyagwa avunaaniddwa n’abantu abalala bana abasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Flavia Nabakooza. Oludda oluwaabi lugamba nti Munyagwa ne banne bwezaali nga 29th omwezi oguwedde beetaba mu kwekalakaasiza ku palamenti nga tebafunye […]

Mubiru ajulidde ku bisiyaga

Mubiru ajulidde ku bisiyaga

Ali Mivule

October 1st, 2015

No comments

Eyali maneja wa SC Villa Chris Mubiru ajulidde ekibonerezo ky’emyaka 10 egyamuweebwa olw’okusiyaga omulenzi omuto. Mubiru era mu kujulira kw’atadde mu kkootie nkulu ewakanya n’eky’okusingisibwa omusango. Ono kkooti ento eya Buganda road yeeyamusingisa emisango era n’alagirwa okusasula obukadde 50 eri omuvubuka gweyaiyaga Okusingisa mubiru omusango, […]

Iran ekolokkose Saudi Arabia

Iran ekolokkose Saudi Arabia

Ali Mivule

October 1st, 2015

No comments

Eggwanga lya Iran litegeezezza nga bweryafiiriddwa abalamazi 464 mu kanyigo k’abalamazi mu ggwanga lya Saudi Arabia. Ab’obuyinza mu ggwanga lino bagambye nti tebakyalina ssuubi lyakusanga munansi waabwe yenna ng’akyali mulamu kwabo bonna ababadde bakyabuze. Okusinziira ku b’obuyinza mu ggwanga lya Saudi Arabia, abantu  769 baafiira […]

Okugema olukunsense kutuuse

Ali Mivule

October 1st, 2015

No comments

Minisitule y’ebyobulamu yakugema abaana obukadde 7 okuva eri obulwadde bw’olukusense. Okugema kuno okwekikungo kwakutandika okuva nga 3 October omwaka guno. Minisita omubeezi ow’obujanjabi obusookerwako Sarah Opendi agamba bakugem abaana abatanaweza mwezi okutuusa kwabo abalina emyezi 59 okusobola okukendeeza ku kirwadde kino mu baana. Enteekateeka yonna […]

SSabalamuzi alumbye bannabyabufuzi

SSabalamuzi alumbye bannabyabufuzi

Ali Mivule

October 1st, 2015

No comments

Ssabalamuzi w’eggwanga  Bart Magumba Katureebe avumiridde banabyabufuzi abeyingiza mu mirimu gy’esiga eddamuzi mu kifo ky’okutumbula obukulembeze obulungi. Katureebe ategezezza nti abantu abali mu buyinza nga bannabyabufuzi, ababaka ba pulezidenti, poliisi abamakomera n’abalala balina kukolaganira wamu okulwanyisa obuzzi bw’emisango emisango gireme kwetuuma. Katureebe bino abyogeredde ku […]

Omufumbi asse omusomesa

Omufumbi asse omusomesa

Ali Mivule

October 1st, 2015

No comments

Entiisa ebutikidde abayizi n’abasomesa b’essomero lya  Kingsland Junior School Lwankoni mu disitulikiti ye Rakai oluvanyuma lw’omufumbi okubagulawo emmotoka y’essomero n’atomera omusomesa n’amutta wamu n’okulumya abayizi 3. Boaz Tumwiine nga musomesa wa luzungu y’afiiriddewo nga bbo abayizi abalumiziddwa bategerekese nga Everline Nalwanga 12, Phiona Nakeya 9, […]

Abavuganya bawagidde okugoba abavubuka n’amaggye

Abavuganya bawagidde okugoba abavubuka n’amaggye

Ali Mivule

September 30th, 2015

No comments

Abavuganya mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga baanirizza eky’okugoba ababaka b’abavubuka , abakozi ne bannamaggye mu palamenti. Olunaku lwajjo, abalamuzi ba kkooti y’okuntikko bataano awatali kwetemamu basazeewo nti bano tebaddamu kulondebwa kubanga amateeka agabalambika tegaliiwo Akulira oludda oluvuganya mu palamenti Wafula Oguttu agambye nti kino ssinga kyabeerawo […]