Amawulire

Ensolo zikwatibwa

Ensolo zikwatibwa

Ali Mivule

September 25th, 2015

No comments

Poliisi etandise ebikwekweto okukwata abasuubuzi abakyagula ebisolo okuva mu disitulikiti ezaatekebwako envumbo olw’obulwade bwa kalusu. Bino webigyidde nga sabiiti eno poliisi e Nakaseke yakakwata biroole bibiri nga bikubyeeko ente okuva e Nakaseke. Ayogerera poliisi yeeno, Lameck Kigozi atubuulidde nti bakwatagenye n’abasawo b’ebisolo, kko n’abakulembeze abalala […]

Iran erumbye Saudi

Ali Mivule

September 25th, 2015

No comments

Eggwanga lya Iran likulembeddemu abo abalumbye eggwanga lya Saudi Arabia ku bantu abasoba mu 700 abafiiridde mu ggwanga lino. Abantu 717 beebafudde n’abalala 863 nebalumizibwa mu kanyigo akabadde okumpi n’ekibuga ekitukuvu Mecca. Akulira akakiiko ka Iran akakola ku by’okwerinda agambye nti abantu bano bangi abafudde […]

Bukenya atandise okunonya emikono

Bukenya atandise okunonya emikono

Bernard Kateregga

September 24th, 2015

No comments

Eyaliko omumyuka womukulemebeze we gwanga omukenkufu Gilbert Bukenya ategeezeza nga bwagenda okutandika okukunganya emikono eginamusobozessa okwesimbawo mukulonda okugya. Bukenya nga ayita mukibiinakye ekya Pressure for National Unity atubuulide nti olunaku olw’enkya atandika okutabaala egwanga nga anoonya emikono, era nga atandikiddde Masaka, Lwengo, Ssembabule ne Rakai. […]

Jjaja obuyisilamu ayogedde kukulonda  supulimu Mufuti

Jjaja obuyisilamu ayogedde kukulonda supulimu Mufuti

Bernard Kateregga

September 24th, 2015

No comments

Jjaja w’obuyisiramu omulangira Kasim Nakibinge ategeezeza nga olukiiko lwabamaseeka olukulu bwerugenda okutuula akadde konna, lulonde supulimu Mufuti anadda mubigere by’omugenzi Zubail kayongo eyaffa gyebuvudeko. Bwabade ayogerera mumakaage, oluvanyuma lw’okusaala Eid e Kibuli, Nakibinge agambye nti baludde ebanga nga basuubira nti enteseganye n’ekiwayi kya kampala mukadde […]

Ekitongole ekikola ku by’emitindo kilabudde

Ekitongole ekikola ku by’emitindo kilabudde

Bernard Kateregga

September 24th, 2015

No comments

Ekitongole ekikola ku by’emitindo kitegeezeza nga bwekigenda okutandika okuvunaana abantu bona abakwatibwa nga bakola kko n’okusaasanya ebintu ebigingirire mu uganda. Bano okuvaayo n’enkola eno kidiridde okuwumbawumba ebikwekweto ebimazze emyezi 4 ,mwebakwatidde abintu ebigingirire ebiwerera dala. Twogedeko nakulira ekitongole kino Ben Manyindo, natutegeeza nti baludde nga […]

Ab’omukago batudde- Besigye afulumye

Ali Mivule

September 23rd, 2015

No comments

Akutte bendera ya FDC Dr. Kiiza Besigye azzeemu okwekandagga okufuluma akafubo k’omukago gwa TDA. Besigye nga yakafuluma ategeezezza bannamawulire nti abasigaddeyo basobola okusalawo. Besigye agambye nti ye yesimbyeewo bwesimbi ng’okusalawo kuli eri omukago. Bw’abuuziddwa oba akyakkirirza mu mukago, Besigye agambye nti awagira omukago kasita gubaako […]

Babiri bafudde

Babiri bafudde

Ali Mivule

September 23rd, 2015

No comments

Abantu babiri kikakasiddwa nti bafudde ate abalala musanvu tebamanyiddwaako mayitire oluvanyuma lw’eryaato mwebabadde batambulira okubbira. Akabenje kano kabaddi wakati w’omwalo gwe Dolwe ne Sagit ng’eryaato eribaddeko abantu 23 likoonye olwaazi neribbira. Aduumira poliisi mu bukiikaddyo bwa Busoga Ashiraf Chemonges agambye nti abantu bano babadde bava […]

Omulimi ayagala bwa pulezidenti

Omulimi ayagala bwa pulezidenti

Ali Mivule

September 23rd, 2015

No comments

Abantu abakagyayo empapula z’okwesimbawo ku bwa pulezidenti baweze 49. Amakya galeero  Grace Musimani naye yegasse mu lwokaano lw’abayagala okuvuganya pulezidenti Museveni nga ye asuubizza okutumbula eby’obulimi. Musimani ategezezza nti bangi bagyeyo empapula naye nga tawulira akoona ku kyakutumbula byabulimi kwekusalawo yesowoleyo. Akakiiko k’ebyokulonda wiiki ewedde […]

Temusaddaaka baana- Ssabasajja

Temusaddaaka baana- Ssabasajja

Ali Mivule

September 23rd, 2015

No comments

Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II avumiridde ebikolwa by’okusaddaaka abaana ebyeyongedde okwetolola eggwanga. Mu bubaka bwe obwa Eid beene ategezezza nga okuyiwa omusaayi olw’obugagga bwetali nkola yamubuntu kale nga ekivve kino kisaanye okukoma. Kabaka ategezezza nga Eid bwelina okubeera eyamakulu eri abakkiriza okujjukira […]

Maama asudde omwana mu ttooyi

Maama asudde omwana mu ttooyi

Ali Mivule

September 23rd, 2015

No comments

Poliisi ye  Mijwala mu disitulikiti ye  Sembabule eri ku muyiggo gwa maama kalittima eyasudde omwanawe ow’ennaku 2 mu kabuyonjo. Ebbujje lino nyina atanategerekeka lisangiddwa mu kabuyonjo ka Paddy Walakira omutuuze we  Kanyumba ku kyalo lwamatabazi . Omu ku batuuze  Ignatius Lukandwa ategezezza nti omwana abadde […]