Amawulire

Iran erumbye Saudi

Ali Mivule

September 25th, 2015

No comments

Eggwanga lya Iran likulembeddemu abo abalumbye eggwanga lya Saudi Arabia ku bantu abasoba mu 700 abafiiridde mu ggwanga lino.

Abantu 717 beebafudde n’abalala 863 nebalumizibwa mu kanyigo akabadde okumpi n’ekibuga ekitukuvu Mecca.

Akulira akakiiko ka Iran akakola ku by’okwerinda agambye nti abantu bano bangi abafudde nga gavumenti ya Saudi Arabia bagirumiriza okutegeka obubi

Yyo Nigeria nayo yegasse dda ku Irana okulumba Sudi obutakuuma bulungi bantu.

Kabaka wa Saudi Salman asabye wabeewo okukyusa ku by’okwerinda by’abalamazi.