Amawulire

Omuntu omu afudde

Ali Mivule

September 29th, 2015

No comments

Omuntu omu afiiriddewo mbulaga mu kabenje akagudde wali e Mukono ku luguudo oludda e Jjinja Akabenje kano kavudde ku wa Taxi namba UAT 696W abadde adda e Mbarara emotoka okumulerera ng’ayisa olwo n’alumba owa bodaboda abadde e bbali. Omugenzi ategerekese nga Bosco Musaabi omusabaaze mu […]

Aba DP basondera paapa

Aba DP basondera paapa

Ali Mivule

September 29th, 2015

No comments

Ab’ekibiina kya  Democratic Party  bagasse ku ekeleziya okusonda ensimbi ezigenda okukola ku kukyala kwa  papa wano mu ggwanga. Omwogezi w’ekibiina kino Kenneth Paul Kakande  ategezezza nga bwebasoose okuwaayo obukadde 5 n’oluvanyuma baweyo endala. Agamba okusonda ensimbi zino kwakukolebwa mu matabi g’ebibiina byonna. Paapa Francis asuubirwa […]

Aba NRM bazizzaayo foomu

Aba NRM bazizzaayo foomu

Ali Mivule

September 29th, 2015

No comments

Ab’ekibiina kya NRM  bazizzayo empapula z’okusunsula anabakwatira bendera ku bwapulezidenti era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni. Abakungu b’ekibiina bakulembeddwamu amyuka ssentebe w’ekibiina Moses kigongo wamu n’omuwanika Rose namayanja . Bano era bazze n’emikono gy’abasembye omuntu waabwe okuva mu disitulikiti ez’enjawulo.

Meeya MUnyagwa akwatiddwa

Meeya MUnyagwa akwatiddwa

Ali Mivule

September 29th, 2015

No comments

Meeya we Kawempe Mubarak Munyaggwa akwatiddwa. Munyagwa bamukwatidde ku luguudo lwa Parliamentary avenue nga akulembeddemu ekibinja ky’abavubuka nga boolekera palamenti okuwaayo ebiteeso byabwe ku nongosereza mu mateeka g’ebyokulonda. Abavubuka bano babadde bawogganira waggulu nti awatali nongosereza teri kulonda. Poliisi ebazindukkirizza abasinga nebabuna emiwabo.

Abakozi ba UNRA bagobeddwa

Abakozi ba UNRA bagobeddwa

Ali Mivule

September 29th, 2015

No comments

Abakozi abawerera ddala 890 beebagobeddwa okuva mu kitongole ekikola ku by’enguudo ekya Uganda National Roads Authority. Mu bagobeddwa kwekuli abaddukanya amawoofisi, abagula ebintu, ebali mu byempuliziganya, ba yinginiya n’abalala bonna ababadde bakola mu kitongole kino. Kino kikoleddwa okweruula okujjawo omujiji omukadde gwebalumiriza okulya enguzi okuzzaawo […]

Ssabassaja asiimye abaategese amasaza

Ssabassaja asiimye abaategese amasaza

Ali Mivule

September 28th, 2015

No comments

Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Muteebi asiimye enteekateeka wamu n’obuganda okweyiwa obungi mu kisaawe e Namboole ku mpaka z’amasaza ez’omupiira ezakamalirizo  ezaaliwo ku lw’omukaaga. Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa minisita w’ebyemizanyo mu Buganda Herny Ssekabembe ,Omutanda atendereza abategesi olw’okukunga abantu mu bungi okweyiwa mu kisaawe e […]

Mutabani wa Binaisa asimattuse

Mutabani wa Binaisa asimattuse

Ali Mivule

September 28th, 2015

No comments

Mutabani  w’eyaliko omukulembeze wa Uganda  Godfrey  Binaisa kkooti ejulirwamu emujjeko  omusango  gwokukabasanya omwana atanaba kwetuuka. Francis Birungi Binaisa, abalamuzi basatu aba kkooti ejulirwamu nga bakulembeddwamu Augustine Nshimye be basazizzaamu ekibonerezo eky’okumusiba emyaka 12 egyali gimuweereddwa kkooti enkulu wano mu Kampala. Binaisa yali yasingisibwa omusango gw’okukozesa […]

Taata afumise omwana ekiso

Taata afumise omwana ekiso

Ali Mivule

September 28th, 2015

No comments

Ku kyalo Bunyagangasa mu disitulikiti ye Sironko,poliisi  ebakanye n’omuyiggo gwa Taata akkidde omwana ow’emyaka 5 gyokka n’amutugga ekiso okukkakkana ng’amuse. Agavaayo galaze nga James Jiga yabadde muganzi w’omukyala maama w’omwana ono, wabula bwebaafunyeemu obutakkaanya ekiruyi n’akimalira ku mwana. Ayogerera poliisi ya Uganda Fred Enanga atubuulidde […]

Asse abaana be

Asse abaana be

Ali Mivule

September 28th, 2015

No comments

Poliisi ye  Nsangi  wano mu Wakiso eriko omukyala gw’eggalidde , nga ono emulanga ku lunga butwa mu mere okukkakkana ng’abantu babiri bafudde , ssonga bana bapookya. Akwatiddwa ye Margret Babirye omutuuze we Nsangi ku kyalo Kivu, oluvanyuma lw’okujulira abaana be bataano emmere wamu ne kitaabwe […]

Omubaka agobeddwa lwa bubbi

Ali Mivule

September 28th, 2015

No comments

Kooti etaputa ssemateeka eragidde omubaka we Bukonzo East Yokasi Bihande Bwambale  okwamuka palamenti era azze omusaala gwonna gw’abadde afuna. Ono avunaanibwa kunyaga obukadde 20  ezaali ez’okukulakulanya ekitundu kye mu mwaka  2009-2010. Tutegeezeddwa ng’abalamuzi 5 nga bakulembeddwamu amyuka ssabalamuzi Steven Kavuma bwebakkaanyizza nti akageri kekiri nti […]