Amawulire

Abakozi ba UNRA bagobeddwa

Abakozi ba UNRA bagobeddwa

Ali Mivule

September 29th, 2015

No comments

Kagina recieves offfices

File Photo: Kagina ngali mu lukiiko

Abakozi abawerera ddala 890 beebagobeddwa okuva mu kitongole ekikola ku by’enguudo ekya Uganda National Roads Authority.

Mu bagobeddwa kwekuli abaddukanya amawoofisi, abagula ebintu, ebali mu byempuliziganya, ba yinginiya n’abalala bonna ababadde bakola mu kitongole kino.

Kino kikoleddwa okweruula okujjawo omujiji omukadde gwebalumiriza okulya enguzi okuzzaawo abapya abagenda okuwandiisibwa

Akulira UNRA  Allen Kagina agambye nti bano kontulakita zaabwe zonna zisaliddwaamu ng’abagaala emirimu bakuddamu okusaba

Kagina agambye nti kyokka basizzaawo abagenda okubudabuuda abo abakoseddwa okugobwa ku mirimu.

Amawulire g’okugoba abakozi mu UNRA gasoose kwanirizibwa kibiina ky’omukago gwa bulaaya nga kino kyekimu ku bissa ensimbi enyingi mu nguudo za Yuganda

Mu kiwandiiko kyebafulumizza, ab’omukago gwa bulaaya bagambye nti bbo kyebagaala mirimu kutambula nga bwekiba nti kugoba bakozi kyekinajjawo enguzi, bakiwagira.

Kko akakiiko akanonyereza ku mivuyo mu kitongole kino kazzemu okukunya abagambibwa okwezibika ensimbi

Olwaleero bano babadde betegereza mulimu gwakolebwa ku luguudo oluva e Tororo okudda eMbale okutuukira ddala e Soroti.

Akulira kkampuni ya Gibb Africa Limited Paul Karekeezi y’abadde mu kakiiko era ono alumirizza abakulu okuyisa amaaso mu magezi agabaweebwa ku luguudo luno nebakola byaabwe.