Amawulire

Mwegendereze emitwe gyammwe

Mwegendereze emitwe gyammwe

Ali Mivule

October 5th, 2015

No comments

Bannayuganda balabuddwa okubeera abegendereza enyo eri embera y’obwongo bwabwe n’obwabalala. Omulanga guno wegujidde nga Uganda yegasse ku nsi yonna okukuza wiiki y’ebyobwongo etandikamokuva leero nga 5 okutuusa nga 10 October. Omwogezi w’ekibiina ekigatta ababudabuda abantu mu Uganda Ali Male says ategezezza nga abantu bwebalina okwegendereza […]

Abadde asse kitaawe

Abadde asse kitaawe

Ali Mivule

October 5th, 2015

No comments

Poliisi ye Sembabule eriko omusajja ow’emyaka 35 gwekutte  lwakugezaako kutta kitaawe. Francisco Malinde omutuuze ku kyalo  Lutunku  y’akwatiddwa oluvanyuma lw’okulumba kitaawe Gerald Bbale  n’effumu amutte lwakugaana kuwa nyina nyumba. Abatuuze bebaddukiridde muzeeyi Bbale oluvanyuma lw’okulaya enduulu nga omutabani amutta. Omwogezi wa poliisi mu bukiika kkono […]

Abaana basatu battiddwa

Ali Mivule

October 5th, 2015

No comments

Poliisi mu disitulikiti ye  Pallisa etandise okunonyereza ku kutibwa kw’abaana 3. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Bukedi  Michael Odongo abagenzi abamenye nga  Charles Tukei, Joseph Adupa ne  Francis Odeke bano nga batugiddwa emirambo gyabwe negisulibwa mu kitoogo kye Odwarata. Kigambibwa nti abaana bano babadde  […]

Mao tannasalawo kiddirira

Ali Mivule

October 5th, 2015

No comments

Ssenkaggale w’ekibiina kya Democratic Party Norbert Mao  tanasalawo ku ky’okwesimbawo ku bukiise bwa palamenti obwa municipaali ye Gulu mu kulonda kw’omwaka ogujja.   Mao agamba abantu bangi bazze bamusaba yesimbewo wabula nga akyayagalayo obudde okwebuuza ku kibiina kye.   Mao agamba okudda kwe mu palamenti […]

Kiyongobero mu maka ga minisita Mutende

Ali Mivule

October 5th, 2015

No comments

Embeera ya kiyongobero mu maka g’abadde minisita w’ebyamakolero, James Mutende. Abakungubazi bakyakungaanidde mu maka gano wali e Lukuli .   Zzo  enteekateeka z’okuziika omugenzi zifulumye nga era omulambo gwakutwalibwa mu palamenti ku lunaku olwokusatu. Okusinziira ku minisita w’ebyamasanyalaze Iren Muloni  omugenzi era wakusabirwa ku kanisa […]

Abasoba mu 100 bakwatiddwa

Ali Mivule

October 5th, 2015

No comments

Poliisi eriko abantu 198 bekyagalidde bano nga baabadde bagezaako okutabangula emirembe mu ntujjo ya KCCA eya Kampala city carnival eyabaddewo olunaku lw’eggulo . Bano kuliko abasazi b’ensawo,abanyakuzi b’obusimu ssako nebamuliisa maanyi. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategezezza nga abaserikale abasoba mu 1000 ku […]

UCHUMI eggaddewo ettabi lye Kabalagala ne Nateete

UCHUMI eggaddewo ettabi lye Kabalagala ne Nateete

Ali Mivule

October 5th, 2015

No comments

Abakozi ku  supermarket ya Uchumi e Kabalagala bakonkomalidde ku milyango tebamanyi kyakukola bwebakedde nebasanga nga  webakolera bagaddewo. Abamu ku bakozi bwtwogeddeko nabo bategezezza nti kibabuseeko bananyini supermarket okuggalawo nga mpaawo kunyonyola kwebabawadde.  

Abayizi e Makerere beekalakaasa

Abayizi e Makerere beekalakaasa

Ali Mivule

October 5th, 2015

No comments

Abakulira ettendekero ly’e Makerere n’abakulira abayizi ku ttendekero lino bevumbye akafubo oluvanyuma lw’abayizi okukeera okwekalakaasa. Bano bawakanya eky’okumalayo fiizi zonna mu ssabbiiti mukaaga ezisooka. Yo poliisi nga ekulembeddwamu agidumira mu kitundu kino Wesley Nganizi kati bagaddewo omulyango gw’ettendekero lino omutungole okwewala abayizi okufuluma okukola efujjo […]

Yesaze lwa musajja

Yesaze lwa musajja

Ali Mivule

October 3rd, 2015

No comments

Omukyala yesazesaze oluvanyuma lw’okufuna obutakkanya ne muganzi we gw’alinamu abaana 3. Amina Nakiryowa owe Mutungo Biina yasazeewo okwesala omubiri gwonna nga mw’otwalidde emisuwa ekimuviriddeko okuvaamu omusaayi omungi. Nga twogerako n’ab’oluganda be abatagadde kwatuukirizibwa mannya bategezezza nga bano bwebafunye obutakkanya olunaku lwajjo ne mwami we omwami […]

Abasoba mu 150 tebayingidde maggye

Abasoba mu 150 tebayingidde maggye

Ali Mivule

October 3rd, 2015

No comments

Abantu abasoba mu 150 beebagaaniddwa okuyingira amaggye mu disitulikiti ye Masaka lwabutaba na mpapula z’abuyigirize zimala wamu n’okulemererwa okuyita ebigezo ebirala. Bano ababadde bagala kuyingira maggye ka UPDF ag’omu bbanga. Akulembeddemu okusunsula, mu kitundu ky’amasekati Col. Jeff Mukasa agambye nti banoonya abantu abalina obuyigirize obwa […]