Amawulire

Ssabasajja alambula- katikkiro akunze ku mutindo

Ssabasajja alambula- katikkiro akunze ku mutindo

Ali Mivule

October 7th, 2015

No comments

Katikkiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga akunze bannayuganda okwettanira okwongera omutindo ku bintu byebakola olwo nebanafunamu okusinga Ng’atongoza kkampuni ya ensogozi y’omwenge, Owek Katikkiro agambye nti ebintu bingi bwebitundibwa ng’omutindo guli wansi tebivaamu nsimbi ziri awo kale nga ssinga birongoosebwa kiyamba. Awadde eky’okulabirako kya […]

Kavuyo e Makerere- abayizi balemedde ku nsonga

Kavuyo e Makerere- abayizi balemedde ku nsonga

Ali Mivule

October 7th, 2015

No comments

Poliisi ekyali mu gyangu onkwekule n’abayizi  ku ttendekero ekkulu e Makerere abakyekalakaasa nga bawakanya okusasula fiizi zonna mu ssabbiiti 6 ezisooka mu lusoma. Poliisi kati eva kizimbe ku kizimba okukwata abo abakola effujjo. Akulira ebyokwerinda ku ttendekero lino Jackson Mucunguzi agamba abayaaye nabo bagasse mu […]

Ababaka bakungubagidde Minisita Mutende

Ababaka bakungubagidde Minisita Mutende

Ali Mivule

October 7th, 2015

No comments

Ababaka ba palamenti ab’enjawulo n’abantu abalala bakyeyiwa ku palamenti okukuba eriiso evvanyuma ku mugenzi Dr James Mutende nga ono ye minisita omubeezi ow’amakolero. Mutende y’afa ku lunaku olwomukaaga mu maka ge e Makindye. Nga ayogerako nebannamawulire, omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga  Edward Kiwanuka Sekandi ategezezza nga okufa […]

Mwebuuze ku bantu ku kujjawo akalabba

Ali Mivule

October 7th, 2015

No comments

Sipiika wa palamenti ategezezza nga bannayuganda bwebasaana okusooka okwebuzibwako nga ebbago ly’etteeka ku by’okuwera akalabba terinayisibwa kufuuka  tteeka.   Nga agulawo enteeseganya za palamenti ku ky’okugyawo akalabba,sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga ategezezza nga ensinga eno bweli eyamakulu enyo kale nga ne bannayuganda balina okuweeba omukisa […]

Pamiti zaakutuuka mu bitundu

Pamiti zaakutuuka mu bitundu

Ali Mivule

October 6th, 2015

No comments

Minisitule ekola ku by’enguudo ekwataganye ne kkampuni ya face technologies okutandika okugaba pamiti eri abazeetaga mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu. Enkola eno yakusobozesa abagaba pamit  okutambula ebitundu ebitali bimu okuyambako abo ababeera ewala. Ng’atongoza enkola eno, minisita w’ebyenguudo John Byabagambi agambye nti kino kijja kukendeeza […]

Bana bayisiddwaamu

Bana bayisiddwaamu

Ali Mivule

October 6th, 2015

No comments

Akakiiko akalondesa kayisizzaamu emikono egyatwalibwa abantu bana okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga Mu bayise ku mutendera guno kuliko pulezidenti Yoweri Museveni, Dr. Kiiza Besigye, Amama Mbabzi ne Dr. Abed Bwanika . Omwogezi w’akakiiko akalondesa Jotham Taremwa agambye nti bamaze owkekebejja emikono gya bano nga tegiriimu birumira. […]

Ababundabunda bakweyongera

Ababundabunda bakweyongera

Ali Mivule

October 6th, 2015

No comments

Eggwanga lya Turkey lirabudde nti omuwendo gw’ababundabunda okuva mu ggwanga lya Syria gwandyeyongera okulinnya olw’olutalo okweyongera mu ggwanga luno Bino byogeddwa ab’omukago gwa bulaaya abagamba nti okuva Russia ne Iran lwebayingira mu nsonag z’eno, omukulembeze ali mu ntebe Bashar al-Assad yeeyongedde amaanyi era n’okusindikiriza abantu […]

Okukyala kwa Paapa- abasumba basonze awali ebizibu

Okukyala kwa Paapa- abasumba basonze awali ebizibu

Ali Mivule

October 6th, 2015

No comments

Ng’eggwanga lyesunga okukyaaza papa, ba ssabasumba b’abakatolika bafulumizza olukalala okuli ebyetaaga okussaako essira mu kaseera kano Ekiwandiiko ekivudde mu Lukiiko lw’abesikoopi olukulembewa ssabasumba John Baptist Odama kiraze nti ebizibu ebisaanye okussibwaako essira kuliko abantu abali mu bufumbo bwa kawundo kakubye eddirisa, obufumbo obujjudde entalo, obulogo, […]

Abadde aketta muganzi we afudde

Abadde aketta muganzi we afudde

Ali Mivule

October 6th, 2015

No comments

Entiisa ebuutikidde abatuuze be Bukulula Kalungu omusajja ow’emyaka 35 bw’afiiridde mu nyumba ng’agezaako okuliimisa muganzi we. Monday Luguguza afiiridde mu kadirisa mw’abadde akukutira okutuuka ku muganzi we ategerekese nga Scovia Nakalyango. Okunonyereza okwakakolebwaako kulaga nti abagalana bano basoose kugendako mu kaliyoki era bweyamutuusizza ewaka n’ayita […]

Kampeyini za NRM zitandika nkya

Kampeyini za NRM zitandika nkya

Ali Mivule

October 6th, 2015

No comments

Ab’ekibiina kya NRM balubudde abagenda okwesimbawo ku kukozesa emotoka za gavumenti okuwenja obululu. Ekibiina kino kifulumizza enteekateeka zaakyo nga ttabamiruka wakukwatibwa nga 30th omwezi guno ate ng’akamyufu ku bifo bya wansi nako ka guno omwezi. Akulira akakiiko akalondesa Dr Tanga Odoi agambye nti okuva olunaku […]