Amawulire

Omuvubuka gumusinze

Omuvubuka gumusinze

Ali Mivule

October 5th, 2015

No comments

Omuvubuka ow’emyaka  20 asingisiddwa omusango gw’obuliisa manyi. Henry Muduuku alabiseeko mu maaso g’omulamuzi omukulu ku kkooti ento ey’okuluguudo lwa Buganda  Flavia Nabakooza era teyegaanye musango. Omulamuzi amusindiise ku meere e Luzira Okutuusa nga October 7th 2015 lw’anamusalira nga amaze okuwulira  gwebatusaako obuliisa manyi atabadde mu […]

Owa Boda bamufumise omusumaali mu matu

Owa Boda bamufumise omusumaali mu matu

Ali Mivule

October 5th, 2015

No comments

Omugoba  wa Boda Boda ku siteegi ye masanafu apookya na biwundu ababbi abeefudde abasabaaze byebamutusizzaako nga tebanabulawo na boda ye. Erias Kasango ow’emyaka 26 apangisiddwa omusabaaze okumutwala e Nansana wabula awo weyakomye okutegeera. Ono asangiddwa ng’afumitiddwa emisumaali mu matu era nga tajjukira byamutuseeko. Kasango tanaba […]

Abanyazi b’oku mazzi battiddwa

Ali Mivule

October 5th, 2015

No comments

Poliisi ku bizinga bye Migingo esse abanyazi b’oku mazzi bana  nga nzaalwa ze Tanzania. Abanyazi bano kigambibwa okuba nga babadde batigomya abasuubuzi abakozesa omukutu gwe migingo Dorwe mu disitulikiti ye Namayingo Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agambye nti abanyazi bano babadde babba obutimba, […]

Abakyala batabuse ku mateeka

Ali Mivule

October 5th, 2015

No comments

Ab’ebibiina by’abakyala mu ggwanga bavumiridde ekya Palamenti olw’okuyisa enongoosereza mu tteeka erikwata ku by’okwesimbawo n’okulonda kwa Pulezidenti n’ababaka mu Palamenti. Kati abaagala okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bateekeddwa okusasula obukadde amakumi abiri okuva ku bukadde bwa silingi munaana eri ab’akakiiko k’ebyokulonda, ate abaagala okukiika mu Palamenti […]

Lukyamuzi addukidde mu kkooti

Ali Mivule

October 5th, 2015

No comments

Ssenkaggale w’ekibiina kya CP John Ken Lukyamuzi ayagala okulonda kwa 2016 kuyimirizibwe Ataddeyo omusango mu kkooti enkulu ng’alumiriza akakiiko akalondesa okuwandiisa ab’ekibinja ekikulemberwa Daniel Walyemera ate nga tebabamanyi Lukyamuzi yegasse wamu ne ssabawandiisi we Ssemusu  Mugobansonga n’alumiriza akakiiko akalondesa olw’okubayisaamu amaaso mu ngeri eyinza okubuzabuuza […]

Omukyala ayimbuddwa

Ali Mivule

October 5th, 2015

No comments

Kkooti eyimbudde omukyala eyakwatibwa ku palamenti wiiki ewedde. Hamidah Nasimbwa ajjiddwaako emitwalo 30 ate abamweyimiridde nebalagirwa okuwa obukadde butaano ezitali za buliwo. Kigambibwa nti bwezaali nga 27th September 2015 Hamida ne banne abaali bakulembeddwaamu meeya Mubarak Munyagwa beetaba mu kwekalakaasa ku palamenti ekimenya amateeka g’enkungaana […]

Baasi esse bana

Baasi esse bana

Ali Mivule

October 5th, 2015

No comments

Baasi ebadde ewenyuka obuweewo ekoonye abantu bana nebafiirawo. Akabenje kano kagudde wali e Kasana Luweero Baasi ya KK travelers namba UAM 348 H abantu bano b’ekoonye babadde batambulira ku pikipiki. Ayogerera poliisi mu bitundu bya Savannah, Lameck Kigozi agambye nti piki eno abadde etuddeko abantu […]

Abasomesa bakuzizza olunaku lwaabwe

Abasomesa bakuzizza olunaku lwaabwe

Ali Mivule

October 5th, 2015

No comments

Nga abasomesa bajaguza olunaku lwaabwe olwaleero, gavumenti esabiddwa okwongera okuteeka essira ku mutindo gw’abasomesa ssaako n’okulaba nga bakolera mu mbeera eyeyagaza. Omulamwa gw’olunaku gugamba nti okutereeza embeera z’abasomesa mu kuleetawo enkulakulana. Ssabawandiisi w’ekibiina ekigatta abasomesa mu ggwanga James Tweheyo ategezezza nga abaana bangi kati bwebasobola […]

Abe Makerere batuula nkya ku bya fiizi

Abe Makerere batuula nkya ku bya fiizi

Ali Mivule

October 5th, 2015

No comments

Ab’ettendekero ekkulu e Makerere bakuddamu okutuula olunaku lw’enkya okusalawo ku ky’abayizi okusasula fiizi zonna mu sabbiiti mukaaga ezisooka mu lusoma . Amakya galeero abayizi bakedde kwekalakaasa nga bawakanya etteeka lino nga bagamba nti linyigiriza omwana w’omunaku. Mu nsisisnkano gyebabaddemu amakya galeero, ab’olukiiko olutwala ettendekero lino […]

Mu Burundi abalala battiddwa

Mu Burundi abalala battiddwa

Ali Mivule

October 5th, 2015

No comments

Mu ggwanga lya Burundi abantu bongedde okuttibwa nga kati 8 bakubiddwa amasasi mu kibuga Bujumbura agabagye mu budde. Abatuuze bategezezza omukutu gw’amawulire ogwa  Reuters nti poliisi n’abavubuka b’ekibiina ekiri mu buyinza ekimanyiddwa nga Imbonerakure bwebasse abantu bano nga kigambibwa baabadde babbaye amasimu okuva mu mayumba […]