Amawulire

Mutabani wa Binaisa asimattuse

Mutabani wa Binaisa asimattuse

Ali Mivule

September 28th, 2015

No comments

File Photo: Binaisa ngali mu kooti

File Photo: Binaisa ngali mu kooti

Mutabani  w’eyaliko omukulembeze wa Uganda  Godfrey  Binaisa kkooti ejulirwamu emujjeko  omusango  gwokukabasanya omwana atanaba kwetuuka.

Francis Birungi Binaisa, abalamuzi basatu aba kkooti ejulirwamu nga bakulembeddwamu Augustine Nshimye be basazizzaamu ekibonerezo eky’okumusiba emyaka 12 egyali gimuweereddwa kkooti enkulu wano mu Kampala.

Binaisa yali yasingisibwa omusango gw’okukozesa omwana ow’emyaka 12, mu mwaka gwa 2012 era olw’okuba teyamatira na kibonerezo kya kkooti, yeekubira enduulu mu kkooti ejulirwamu nga awakanya ensala y’omulamuzi Rugadya Atwoki.

Abalamuzi abasatu bategeezeza nti Binaisa teyaweebwa lukusa lwa kwewozaako,wabula  omulamuzi eyaguli mitambo yagenda maaso n’okuwuliriza omusango newakubadde munnamateeka Yunus Kasirivu nabalala bali baguvudemu.

Binaisa abadde mu komera e Luzira okuva mu mwaka gwa 2011  okutuusa leero.