Amawulire

NRM esekeredde abeekalakaasa

Ali Mivule

September 22nd, 2015

No comments

Akakiiko k’ekibiina kya NRM ak’ebyokulonda tekayiguse ttama ku bamemba b’ekibiina abatiisatiisa okukyabulira. Kino kiddiridde minisita omubeezi ow’ebyettaka nga era ye mubaka omukyala owa Kayunga Aidah Nantaba okutegeeza nga bweyavudde mu NRM olw’obubbi bw’obululu okweyolekedde mu kamyufu k’abakulembeze b’ekibiina ku disitulikiti gyebamumegedde. Nantaba y’alangiridde nga bw’agenda […]

Amateeka gakereeye nnyo- Kadaga

Ali Mivule

September 22nd, 2015

No comments

Omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Rebecca Kadaga mwenyamivu olwa gavumenti okulwawo okwanja amateeka g’ebyokulonda okukubaganyizibwako ebirowoozo.   Nga agulawo olutuula olw’enjawulo okuteesa ku tteeka ly’ebyokulonda, ategezezza nga bwebali mu kupakuka ku tteeka lino kale nga gavumenti esaanye obutanyooma mirimu gya palamenti.   Sipiika agambye ababaka mu […]

Atemyeeko omwana we omutwe

Atemyeeko omwana we omutwe

Ali Mivule

September 22nd, 2015

No comments

Entiisa ebutikidde abatuuze ku muluka gwe  Ogul mu disitulikiti ye Gulu maama bw’atemyeko mutabaniwe ow’emwaka ogumu omutwe omulambo n’agusuula mu kabuyonjo. Betty Acan  omusomesa  ku ssomero lya  Ogul Primary school  kigambibwa nti y’akutte ejambiya n’atemako mutabaniwe Joshua Kipa omutwe mu nimiro. Omwogezi wa poliisi mu […]

Kyanjo yewozezzaako

Ali Mivule

September 22nd, 2015

No comments

Omubaka wa Makindye West Hussein Kyanjo yenyonyoddeko ku by’okusimbawo mutabani we okudda mu kifo kye oluvanyuma lw’okulangirira nti ye tadda. Gyebuvuddeko Kyanjo y’alagayo mutabaniwe Farouk Kyanjo naye ow’ekibiina kya JEEMA nga agenda okumuddira mu bigere ku bukiise bwa Makindye West. Kyanjo agamba y’asoose kwebuuza ku […]

Omwana afudde asima kaamuje

Ali Mivule

September 22nd, 2015

No comments

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Nkomangani mu Kyegegwa   abaana 3 ababadde bagenze okusima  Kamuuje wansi bwebabuutikiddwa ettaka omu n’afirawo. Poliisi okuva e Kyegegwa ng’eyambibwako abatuuze basobodde okusimayo omulambo gw’omwana ono  ategerekese nga SsandeMuseveni Sande ow’emyaka 14. Kitaawe w’omwana ono Puluvisi Gamukama ategezeezza nga mutabani […]

Amama ne Besigye beebasigadde mu mukago

Ali Mivule

September 22nd, 2015

No comments

Olwokaano lw’anakwatira omukago gw’ebibiina ebivuganya gavumenti gusigaddemu abantu babiri bokka.   Ssenkaggale w’ekibiina kya DP  Nobert Mao n’eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga  Gilbert Bukenya bazze ebbali nebalekera DR Kiiza Besigye ne Amama .     Kaakati omwogezi w’omukago guno era akulira oludda oluvuganya gavumenti  Wafula Oguttu […]

KCCA bagiwaabye, eboye taxi

Ali Mivule

September 21st, 2015

No comments

Kkampuni eyazimba ekifo ekiwummulirwaamu okumpi ne kkanisa ya watoto eyagala KCCA egisasule obuwumbi musatu n’ekitundu lwakumenya ndagaano. Kkampuni eno emanyiddwa nga Jevi Media Solutions Ltd egamba nti KCCA yagiwa omulimu mu mwaka 2012 , bano baali balina okufuna ensimbi eziva mu birango ebissibwa ku kifo […]

Amasomero gaggaddwa mu Kenya

Ali Mivule

September 21st, 2015

No comments

Mu ggwanga lya Kenya namasomero gaggaddwa nga ensonga za musaala gwa basomesa Abasomesa kati babadde bamaze ssabbiiti ssatu nga tebasomesa nga bagaala kubongeza musaala. Kooti mu ggwanga lino yalagidde nti abasomesa bongezebwe omusaala n’ebitundu 50 ku kikumi kyokka nga gavumentie gamba nti tewali ssente Omukulembeze […]

Omusirikale asse nyina

Ali Mivule

September 21st, 2015

No comments

Ebadde ntiisa omusajja bw’atomedde nyina n’amuttira ewaka Ekikangabwa kino kibadde ku kyaalo Kakutu mu disitulikiti ye Kibuku Ayogerera poliisi mu bitundu bye Bukedi Michael Odongo ategeezezza nga Adam Mulabbi bw’akoonye nyina w’emyaka 70 ategerekese nga Hajati Aziza Nisemba. Omusajja ono kigambibwa okuba nti abadde atuuse […]

Baryamureeba azizzaayoe mpappula

Ali Mivule

September 21st, 2015

No comments

Eyesimbyewo ku bukulembeze bw’eggwanga Venansius Baryamureeba akomezzaawo foomu ng’akungaanyizza emikono okuva mu disitulikiti 78 Wabula ono asanze obuzibu bwa maanyi olw’ebyuma ebiraga ensimbi ezisasuddwa okufa Omuntu yenna okwekakasibwa mu lwokaano lw’omukulembeze w’eggwanga alina okuleeta emikono okuva mu distulikiti 75 n’okuwaayo obukadde munaana Wabula Baryamureeba taweereddwa […]