Amawulire

Munyagwa ayimbuddwa

Ali Mivule

September 21st, 2015

No comments

Meeya wa divizoni ye Kawempe Mubarak Munyagwa kyaddaaki ayimbuddwa Munyagwa yakwatibwa n’aggalirwa poliisi ye Kabalagala oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti ono yajja ku mugagga Francis Kakumba obukadde 60 ng’amusuubizza nti wakukozesa ekifo kye okumulonda ng;akulira olukiiko lwa disitulikiti e Kawempe. Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba […]

Mukole nnyo

Ali Mivule

September 21st, 2015

No comments

Katikkiro wa Buganda owek Charles Peter Mayiga asabye abantu okulemera ku byebakola lwebanaafuna byebeetaaga. Ng’ayogerako eri abantu be Wabigalo ababadde bakungaanye okusonda ettofaali, Katikkiro agambye nti ssi kyangu okuzza Buganda ku ntikko mu bigambo kyokka nga ssinga abantu bamanya kyebagaala nebakiremerako, bingi ebiggya okufunibwa Eno […]

Aba NRM balwanye e Ssembabule

Ali Mivule

September 21st, 2015

No comments

Abawagizi b’ekibiina kya NRM e  Sembabule  balumbye poliisi ye  Kiruhura nga bawakanya okuyimbulwa kw’abantu abagambibwa okutataganya  enkalala z’abalonzi b’ekibiina. Bano nga bakulembeddwamu omubaka w’e Lwemiyaga Theodore Ssekikubo, bategezezza aduumira poliisi ye Kiruhura nga bwebatali basanyufu ku kuyimbulwa kw’abantu bano abasatu abasangula amanya gabamemba ku nkalala. […]

Baryamureeba azzaayo leero foomu

Ali Mivule

September 21st, 2015

No comments

Omu kubesimbyewo ku bwa pulezidenti Prof Venansious Baryamureeba asubirwa okuzzayo empapula z’okusunsulibwa okwesimbawo ku bwa pulezidenti olwaleero eri akakiiko k’ebyokulonda. . Baryamureeba asuubirwa ku kakiiko k’ebyokulonda amakya galero nga era enteekateeka yonna ey’okuzzayo ampapula ekomekerezebwa nga  September 29th. Abantu 48 bebagyayo empapula mu ntekateka eyaggulwawo […]

Leero lunaku lwa mirembe

Ali Mivule

September 21st, 2015

No comments

Nga ezimu ku ngeri z’okujjukira olunaku lw’eddembe mu nsi yonna,olunaku lwaleero olwa nga , 21st September lulangiriddwa nga olunaku lw’okusomesa ku dembe mu massomero gonna mu Uganda. Okulangirira kuno kukoleddwa ekitongole ky’ekibiina ky’amawanga amagatte ekikola ku byenjigiriza by’abaana  ekya  UNICEF. Atwala ekitongole kino mu ggwanga […]

Abavubuka babagobye ku bifo mu NRM

Abavubuka babagobye ku bifo mu NRM

Ali Mivule

September 19th, 2015

No comments

Olukiiko lwa NRM olw’okuntikko lugaanye mukoddomi wa pulezidenti Museveni Odrek Rwabogo okwesimbawo. Rwabogo abadde yesimbyeewo ne Mathew Kyaligonza kko ne Kahinda Otafire ku kifo ky’amyuka ssentebe wa NRM mu bugwanjuba Otafire yye abivuddemu ekirese Kyaligonza nga talina amuvuganya. Olukiiko lwelumu lugaanye Hakim Lukenge okwesimba ku […]

Aba DP babalemesezza e Mukono

Ali Mivule

September 19th, 2015

No comments

Poliisi eremesezza aba DP e Mukono okukumba ku nguudo z’omu kibuga. Bano babadde bategese okutambula okutuuka ku festino city awalina okubeera olukiiko lw’abo bonna abaayise mu kamyufu ka DP. Bano babadde bakatandika poliisi nebebulungulula   Yye akulembeddemu abantu bano Betty Nambooze agambye nti kyannaku nti […]

Seya bamugobye

Ali Mivule

September 19th, 2015

No comments

Olukiiko tabamiruka olwekibiina kya liberal democratic trasperancy olutudde olwaleero lugobye Al hajji Nasser Ntegge Sebaggala ku bukulembeze bw’ekibiina ekyo. Bano balonze Abdnoor Kigunddu okudda mu bigere bye. Henry Walulya naye alondedwa okumyuka ate yye Zaidi Mukasa kati ye ssabawandiisi. Bw’abadde ayogerako nebanamawulire oluvanyuma lw’olukungana luno, […]

Obuveera buyooleddwa

Ali Mivule

September 19th, 2015

No comments

Abakwasisa amateeka okuva mu kitongole ekikola ku butonde bw’ensi ekya NEMA baboye obuveera obubadde bugabwa mu supamaketi  n’amaduuka agabusuubuza mu kibuga kye Masaka. Ekikwekweto kino kissa mu nkola etteeka eryayisibwa nga liwera obuveera okukozesa Omwogezi wa NEMA Bob Nuwangira agambye nti baboye obuveera bwonna obuweweevu  […]

Abali mu BUrkina Faso batubidde

Ali Mivule

September 19th, 2015

No comments

Embeera mu ggwanga lya Burkinafaso ekyaali ya bwerinda yadde ng’enteseganya zikyagenda mu maaso. Bannamawulire abasangibwa mu ggwanga lino nga bagenze kwetaba mu Lukiiko olukwata ku ddembe lyaabwe negyebuli kati bakyasobeddwa Omu ku bano ye Munnayuganda Keno Lilian atutegeezezza enkya ya leero nti nakati tebannaddizibwa biwandiiko […]