Amawulire

Aba NRM balwanye e Ssembabule

Ali Mivule

September 21st, 2015

No comments

Abawagizi b’ekibiina kya NRM e  Sembabule  balumbye poliisi ye  Kiruhura nga bawakanya okuyimbulwa kw’abantu abagambibwa okutataganya  enkalala z’abalonzi b’ekibiina.

Bano nga bakulembeddwamu omubaka w’e Lwemiyaga Theodore Ssekikubo, bategezezza aduumira poliisi ye Kiruhura nga bwebatali basanyufu ku kuyimbulwa kw’abantu bano abasatu abasangula amanya gabamemba ku nkalala.

Ku lwokutaano poliisi ye  Lushere mu disitulikiti ye  Kiruhura y’akwata abasatu bano n’enkalala 53 nga kigambibwa nti basangulako amanya g’abawagizi ba ssekikubo olwo nebaddamu nebookyamu enkalala zino.

Wabula ye aduumira poliisi ye Kiruhura Moles Byaruhanga, y’alagidde abasatu bano bayimbulwe ekitanudde ssekikubo nebanne.

 

Wabula ye ssentebe w’akibiina kya NRM e Sembabule  George William Katokozi asambze ebigambibwa nti baagala kulemesa ssekikubo nga abawagizi be bwebabitema.