Amawulire

Leero lunaku lwa mirembe

Ali Mivule

September 21st, 2015

No comments

Nga ezimu ku ngeri z’okujjukira olunaku lw’eddembe mu nsi yonna,olunaku lwaleero olwa nga , 21st September lulangiriddwa nga olunaku lw’okusomesa ku dembe mu massomero gonna mu Uganda.

Okulangirira kuno kukoleddwa ekitongole ky’ekibiina ky’amawanga amagatte ekikola ku byenjigiriza by’abaana  ekya  UNICEF.

Atwala ekitongole kino mu ggwanga Aida Girma ategezezza nga bwebaagala okuyamba abaana okuwangalira mu mbeera ey’eddembe.

Ye minisita w’ebyenjigiriza  Jesica Alupo agamba ebisomesebwa mu masomero ga pulayimale ne secondary birimu ebikwata ku dembe naye abasomesa bebatabiteekako mulaka.

 

Omulwamwa gw’omwaka guno gugamba nti enkwatagana ku lw’emirembe-Ekitiibwa eri bonna.