Amawulire
Palamenti enasiima Aronda
Palamenti etaddewo olwokuna lwa ssabbiiti eno nga olunaku olw’enjawulo okukungubagira eyali ssabadumizi w’amagye g’eggwanga Gen Aronda Nyakairima. Gen Aronda era abadde omu ku bajaasi ba UPDF 10 abakiikirira amagye mu palamenti. Atwala ebyamawulire bya palamenti Hellen Kaweesa ategezezza nga entekateka bweziwedde okuzza omulambo gw’omugenzi. Agamba […]
Abavuganya bakyalina olugendo
Omukago gw’ebibiina ebivuganya gavumenti gukyalina olugendo luwanvu nyo okulangirira anabakwatira bendera mu kulonda kwa pulezidenti omwaka ogujja. Olunaku olw’eggulo ensisinkano wakatai w’abakulira omukago guno n’abakwatidde ebibiina ebyenjawulo bendera teyavuddemu kalungi. Ensisinkano eyolunaku olulamba batesezza ku byakuteekawo akakiiko akanatunula mu kwemulugunya kwa loodi meeya Eria Lukwago […]
Byandaala ali mu kkooti
Minisita atalina mulimu gwankalakalira Eng. Abraham Byandala wakulabikako mu kkooti olwaleero bamusomere emisango gy’obufere. Kigambibwa nti omusango guno y’aguzza nga akyali minisita w’ebyenguudo. Byandala n’abaali abakungu b’ekitongole ky’ebyenguudo bakulabikako mu kkooti ewozesa abakenuzi mu maaso g’omulamuzi Julius Borore okumanya wa okunonyereza wekutuuse ku musango gwabwe. […]
Asse mukyala we lwa kaboozi
Omusajja asse mukyala we ng’amulanga kumumma kaboozi. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga omukwate amumenye David Kotosi omutuuze ku kyaalo ekimanyiddwa nga green pasture e Mbale. Enanga agamba nti omusajja ono mukyala we amusanze mu kiyungu n’amusaba akaboozi ky’agaanye n’abaka akambe akabadde okumpi. Ono […]
Ebipande bitimbuluddwa
Ab’ekitongole kya Kampala
Omulambo gwa Aronda gukomezebwawo lwa kusatu
Pulezidenti Museveni agamba nti bakukola kyonna ekisoboka okumanya ekituufu ekyasse abadde minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga gen Aronda Nyakairima Bw’abadde akyaliddeko ab’enyumba y’omugenzi, pulezidenti agambye nti gavumenti yatandise dda ku ddimu lino yadde nga tekijja kuzza bulamu bwe. Agambye nti ekirungi nti Gen Aronda yabadde […]
Mulekere awo samwasamwaku Aronda- Kaihura
Gavumenti esabye abantu okusigala nga bakkakkamu nga bw’enonyereza ku kufa kw’omuduumizi w’amaggye g’eggwanga Gen Aronda Nyakarima. Kino kizze wakati mu biyitingana nti Gen Aronda yandiba nga yattiddwa. Gen Kaihura agamba nti kano kaseera kakukungubaga sso ssi kusonga nnwe mu bantu. Bbo abantu bakyagenda mu maaso […]
Abe Kibaale babanja
Abatuuze be Kibaale ne Kasese bagumbye ku kooti enkulu, nga bagamba nti okuvaawo nga gavumenti emaze kubaliyirira. Bano abasoba mu 500 bagamba nti baagobwa mu kibira ekigambibwa okubeera ekya gavumenti kale nga beetaga okubaliyirira obukadde obusukka mu 300 Bano bagamba nti gavumenti yali yabasuubiza okubawa […]
Bannamateeka n’abalondesa basibaganye enkalu
Akakiiko k’ebyokulonda kakalambidde nekategeeza nga bwewatali Muntu agenda kukkirizibwa kukuba nkungaana , okujjako ng’amaze okukakasibwa. Bino byogeddwa akulira akakiiko k’eby’okulonda Eng Badru Kiggundu bw’abadde awayaamu n’abagenda okuvuganya ku bwa pulezidenti ku kitebe ky’ekibiina kino. Kiggundu agambye nti abeesimbyewo baakima bukimi mpapula eziraga nti bagenda kuvuganya […]
Teri muntu yenna kukuba kampeyini- abalondesa
Akakiiko k’ebyokulonda kakiggumizza nga bwewatali Muntu yenna akkirizibwa okukuba enkungana , okujjako nga amaze okususunsulwamu nakakasibwa mukakiiko kano nti egenda kuvuganya. Bino byogedwa akulira akakiiko k’eby’okulonda Eng Badru Kiggundu bw’abadde awayaamu n’abagenda okuvuganya ku bwa pulezidenti ku kitebe kyekibiina kino. Kiggundu agambye nti abantu bonna […]