Amawulire
Kenya ewonye bbomu
Bannakenya basumattuse bbomu ebadde etegedde mu ssemaduuka amanyiddwa nga Garden City mall. Abasajja basatu beebakwatiddwa nga kigambibwa nti babadde bateze bbomu zino poliisi z’esobodde okulemesa okubwatuuka Okusinziira ku beerabiddeko n’agaabwe , omu ku bakwatiddwa kigambibwa okuba ng’agaanye okumukebera kyokka abakuumi nebamusinza amaanyi. Mu mwaka gwa […]
Paapa egonzezza amateeka ku bufumbo
Paapa Francis alangiridde enteekateeka z’okulagayaamu ku mateeka agagobererwa ku kukkiriza abagattiddwa okuddamu okuwasa oba okufumbirwa ssinga badduka mu bufumbo. Mu kadde kano, eklezia tekkiriza bafumbo kwawukana nga balina kuba bonna okutuuka kufa mu mbeera zonna Kati ssinga abafumbo bombi basaba okugattululwa, kijja nga kubaawo Kyokka […]
Okulonda kwa NRM kufumbekedde mivuyo
Okulonda kw’abakulembeze ba NRM ku byalo wali ku Old Kampala kugudde butaka. Kino kiddiridde abalonzi wamu n’abesimbyewo okwekengera enkalala z’abalonzi ezizze nga tekuli bufananayi bw’abalonzi. Abakakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina basazewo abalonzi bawandike amanya g’abo bebaagala okulonda ku bupapula ekiwakanyiziddwa mbagirawo. Mu nteekateeka eno atamanyi kuwandiika abadde […]
Mao wakusookera Masaka
Akulira ekibiina kya DP Norbert Mao kyaddaaki afulumizza enteekateeka ye ey’okwebuuza ku balonzi . Mao agenda kuba ng’akuyega abantu okumuwagira okukwata bendera y’omukago gw’abavuganya ogwa The Democratic Alliance. Omwogezi wa DP Kenneth Paul Kakande agamba nti Mao wakutandikira Masaka olwo ayolekere disitulikiti ye Gulu.
Chris Mubiru pogw’obusiyazi gumusinze
Eyali ssentebe wa SC Villa Chris Mubiru bamusingizizza omusango gw’okulya ebisiyaga. Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Flavia Nabakooza y’asingisizza Mubiru omusango guno oluvanyuma lw’okwetegereza obujulizi obwaleetebwa abajulizi nga bumulumika okuvuga empanka. Omu ku baagwa ku kyokya Emmanuel Nyanzi yoomu ku baawa obujulizi. Nabwekityo omulamuzi […]
Babiri bafiiridde mu kabenje
Abantu 2 bafiiridde mu kabenje akagudde wali ku luguudo lwa queens way. Akabenje kano kavudde ku mmotoka ey’ekika kya super custom eremeredde omugoba waayo n’etomera omuti n’etta abantu 2 ku basatu ababadde okumpi. Abamu ku berabiddeko n’agaabwe bategezezza nga dereva w’emmotoka eno bw’abadde agezaako okutaasa […]
Chris MUbiru musiyazi- Kkooti
Eyali ssentebe wa VIlla Chris Mubiru bamusingizizza omusango gw’okulya ebisiyaga. Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Flavia Nabakooza y’asingisizza Mubiru omusango guno oluvanyuma lw’okwetegereza obujulizi obwaleteebwa abajulizi nga bumulumika okuvuga empanka.
Amannya gabuze ku nkalala
Ba memba b’ekibiina kya NRM ku byalo okuli Nakahuka, Mukitoma, Butanda ne Kanyinya mu disitulikiti ye Kyenjojo batabukidde omuwandiisi we gombolola lwa manya gaabwe kubula ku nkalala n’obutawebwa bululu. Bano balumiriza omuwandiisi ono okusangula amanya gaabwe mu bugenderevu wabula omuwandiisi Clovis Birungi byonna abyeganye. Ategezezza […]
Ab’omukago batudde
Ab’omukago gw’ebibiina ebivuganya gavumenti ogwa The Democratic Alliance bakutuula olwaleero bateese ku nteekateeka egenda okugobererwa mu kalulu ka 2016. Okusinziira ku nsonda ezesigika olusirika luno lwakwetabwamu ba ssenkaggale b’ebibiina, abakulembeze b’ebisinde ebyenjawulo ssaako n’abakulembeze abalala okwongera okuteesa ku nsonga y’enongosereza mu mateeka g’ebyokulonda. Omukago mu […]
Mbabazi agenze Kapchorwa
Eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi olwaleero wakugenda mu maaso n’enteekateekaze ez’okwebuuza ku balonzi ng’ayolekedde Kapchorwa Olunaku olw’eggulo Mbabazi yayuugumizza Mbale era yakubye olukungaana gaggadde ku kisaawe kya Cricket ewabadde namungi w’omuntu. Omwogezi wa Mbabazi Josephine Nkangi ategeezezza nga mukama we bw’agenda okukuba olukungaana ku kisaawe […]