Amawulire

Pulezidenti alonze abalamuzi

Pulezidenti alonze abalamuzi

Ali Mivule

September 7th, 2015

No comments

Pulezidenti Museveni kyadaaki alonze abalamazi mu kooti ey’okuntikko n’eyo ejulirwaamu Abalamuzi abasindikiddwa mu kkooti ey’okuntikko kuliko e Augustine Nshimye, Faith Mwondha, Hon. Opio Aweri, Eldad Mwangusya ne Prof. Lillian Tibatemwa  nga bano bonna bajjiddwa mu kkooti ey’okuntikko. Omulamuzi Alphose Owiny Dollo abadde akola ku misango […]

Omubaka akwatiddwa lwa ttaka

Omubaka akwatiddwa lwa ttaka

Ali Mivule

September 7th, 2015

No comments

Poliisi mu disitulikiti ye Amuru ekutte omubaka we Kilak Gilbert Olanya ku bigambibwa nti akumye mu bantu omuliro okwekalakaasa olw’ettaka erisangibwa mu kitundu kye Apaa. Olanya bamukwatidde mu muluka gwe Parabongo ng’ayolekera ekitundu kye Apaa. Ono webamukwatidde abadde wano n’omubaka omukyala owe Amuru Lucy Akello […]

Abaana ba Kasiwukira bagenze mu kkooti

Ali Mivule

September 7th, 2015

No comments

Abaana b’eyali  omusuubuzi  omukuukuutivu  mu Kampala Eria Bugembe Kasiwukira  bagenze mu kkooti enkulu  nga bagaala bafune olukusa okuddukanya  ebintu bya kitaabwe. Bano nga bakulembeddwamu Eron Mpoza ne Claire Naggayi beegatiddwako  ne kitaabwe omuto John Ggayi Bugembe. Ebintu byebasaba bibalirirwamu  ensimbi  eziwerera  ddala obukadde bitaano nga […]

Mbabazi ayuguumizza Mbale- abasabye bamusseemu obwesige

Ali Mivule

September 7th, 2015

No comments

Eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi aweze okuwereeza bannayuganda n’omutima gumu ssinga anassibwaamu bannayuganda obwesige Ng’ayogerako eri nasiisi w’omuntu akungaanidde ku kisaawe kya Cricket e Mbale, Mbabazi agambye nti wakusookera kusaba nti Mbale afuulibwe ekibuga kubanga kigisaana Ono alumbye poliisi n’ategeeza nti bw’eba eyagala […]

Banyaguludda abatunda omwenge

Banyaguludda abatunda omwenge

Ali Mivule

September 7th, 2015

No comments

Poliisi ye Buwama mu disitulikiti ye Mpigi eri ku muyiggo gw’ababbi abeeyambisizza emmundu nebateega ba kitunzi ba kampuni y’omwenge eya Blue Nile Distillers mu ttuntu lya leero. Bano babanyagululidde wali ku Equator e Kayabwe nebakuuliita n’ensimbi eziri mu bukadde amakumi asatu wamu n’amasimu n’ebisumuluzo by’emmotoka […]

Abayisiraamu bandiviraamu awo ku Mecca

Abayisiraamu bandiviraamu awo ku Mecca

Ali Mivule

September 7th, 2015

No comments

Abayisiraamu abasoba mu 70 beebasuubirwa okusitula okwolekera mecca akawungeezi ka leero. Akulira kkampuni esabaaza abantu bano eya Firdausi Tours and Travel Ahmed Lubega agamba nti bakereeyeemu olw’entambula z’enyonyi Lubega agambye nti enkola empya eyaleetebwa gavumenti ya Saudi Arabia ekalubizza ekkubo ly’okufuna visa Ono agambye nti […]

Mao awakanyizza Besigye ku 2016

Mao awakanyizza Besigye ku 2016

Ali Mivule

September 7th, 2015

No comments

Akulira ekibiina kya DP Norbert Mao awakanyizza eby’okuzira okulonda kwa 2016 nga tewali nongosereza mu mateeka g’ebyokulonda. Ng’ayogerako eri bannamawulire oluvanyuma lw’okuzzaayo foomu z’okwesimbawo okukwata bendera y’abavuganya, Mao agambye nti ekyabagasse ku bavuganya kwekulaba nti basimbawo omuntu omu mu kulonda sso ssi ate kukuzira. Mao […]

Eyatta omupangisa alebuukana na gwa ttemu

Eyatta omupangisa alebuukana na gwa ttemu

Ali Mivule

September 7th, 2015

No comments

Landiloodi eyakuba omupangisa we emiggo n’amutta olw’okuganza muwala we addizidwaayo ku meere e Luzira. James Lubayizi asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka ku City Hall Elias Kakooza alagidde abasirikale b’amakomera  bamuzze e Luzira okutuusa ssabbiiti ejja. Wabula kino kiddiridde omuwaabi wa gavumenti Jackie Kyasimire  okutegeeza […]

Nadduli azizza omuliro

Nadduli azizza omuliro

Ali Mivule

September 7th, 2015

No comments

Ssentebe wa disitulikiti ye Luweero Abdul Nadduli ajereze aba abamusojja kuluwonzi nti talina mpapula zabuyigirize. Nadduli gwetusanze ku kitebe kya NRM ng’azzaayo empappula z’okwesimbawo ku bwa Ssentebe bwa district ye Luweero, Nagambye nti abo ababungeesa engambo nti talina mpapula zabuyigirize bagaala kubuzabuza balonzi mu disitulikiti […]

Ono abba abasaabaze be

Ono abba abasaabaze be

Ali Mivule

September 7th, 2015

No comments

Kondakita wa taxi aludde ng’anyaga abatuuze abakozesa oluguudo lwe Kamwokya Ntinda akwatiddwa era n’asimbibwa mu mbuga z’amateeka. Peter Namawa avunaaniddwa mu kkooti y’omulamuzi Moses Nabende ku City Hall kyokka ng’omusango agwegaanye. Kigambibwa nti Namawa abadde ajja akwata mu nsawo z’abasaabaze  naddala  abatuula mu maaso Asoose […]