Amawulire

Eyabba embwa asuzze luzira

Ali Mivule

September 2nd, 2015

No comments

    Waliwo omusajja ow’emyaka 23 akubidwa mu mbuga z’amateeka nga alangibwa kubba Mbwa Nickson Nimungu nga mutuze we Nakawa yaasimbidwa mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka ku City Hall Elias Kakooza omusango gw’okubba embwa naagwegana. Oludda oluwabi lutegezezza kooti nti nga 8th August 2015 […]

Caayi ayokezza omwana

Ali Mivule

September 2nd, 2015

No comments

  Mu dwaliro e Mulago waliyo omwana ow’emyezi omweda ali mubulumi obutagambika, oluvanyuma lw’okwokyebwa caayi abadde alekedwa ku meezza. Okusinzira ku avunanyizibwa kuby’amaka n’abaana ku polisi ye Wandegeya Stella Asiyo, omwana Charles Kaweesi aleetedwa kitawe Paul Kaweesi omutuuze we Katanga , oluvanyuma lwa nyina okwekweka […]

Abakukusa obwenyanja obuto bakwatidwa

Ali Mivule

September 2nd, 2015

No comments

      Mu district ye Iganga waliwo e motoka ekika kya Fuso ekwatidwa nga ekubyeko obugule bw’obwenyanja obuto. Emotoka eno namba UAR-963c ebade eva ku Nyanja Nalubaale okwolekera disitulikiti ye Busia, era nga ebadeko tani z’ebyenjanja ezisoba mu munaana. Twogedeko ne Imiran Tumusiime nga […]

Omubaka wa masekati ga Kampala bamubanja.

Ali Mivule

September 2nd, 2015

No comments

    Omubaka akikirira amasekati ga kampala Mohamad Nsereko akubidwa mu mbuga z’amateka, nga kino kidiridde okulemwa kusasaula obukade 270 zeyeewola kumusuubuzi w’omukampala. Omusuubuzi Amdan Khan yaatutte Nsereko mu kooti ekola ku by’obusuubuzi, nga ono agamba nti yamuwola Doller 100,000 mu December wa 2012 nga […]

Bosco Ntaganda agenda mu kkooti y’ensi yonna

Bosco Ntaganda agenda mu kkooti y’ensi yonna

Bernard Kateregga

September 2nd, 2015

No comments

Eyali omuyekera mu ggwanga lya Congo Bosco Ntaganda wakusimbibwa mu maaso ga kkooti y’ensi yonna ku misango gy’entalo. Ku gimu ku misango gino kuliko egy’obutemu, okutwala abaana abato mu magye, okusobya ku bakyala n’emirala wabula nga ye bino byonna abyegaana. Abantu abasoba mu 2000 abatusibwako […]

Mulago yakuggalawe omwezi ogujja

Mulago yakuggalawe omwezi ogujja

Bernard Kateregga

September 2nd, 2015

No comments

  Eddwaliro ekkulu erye Mulago lyakuggalawo ekiseera ekigere omwezi ogujja okusobozesa okuddabiriza okugenda mu maaso. Omwogezi w’eddwaliro lino Enoch Kusaasira ategezezza nga ebifo ewajanjabibwa kookolo abaana n’ewa Magumba bwebigenda okukosebwa. Kusaasira agamba obujanjabi obumu bwakujira nga butwalibwa mu ddwaliro ly’e Naguru, Kiruddu ne Kawempe. Okuddabiriza […]

Abavubi e’Buvuma balabudde ministure ku envuba embi

Abavubi e’Buvuma balabudde ministure ku envuba embi

Bernard Kateregga

September 2nd, 2015

No comments

Abavubi ku mwalo gwe Lyabaana mu district ye Buvuma balabudde okwekalakaasa beyiwe ku ministry yebyobuvubi nga bawakanya envuba embi eyakazibwako Early-Up, abavubi abava e Kiyindi gyebaleta ku mwalo gwabwe. Bagamba envuba eno mbi nnyo ngabe Kiyindi bakozesa effujjo okusala obutimba bwabwe obutuufu bbo nebakolera mu […]

Mukazi yatta bba n’abaana baabwe 2 ya ndi yimbuulwa

Mukazi yatta bba n’abaana baabwe 2 ya ndi yimbuulwa

Bernard Kateregga

September 2nd, 2015

No comments

Omulamuzi wa kkooti enkulu e Nakawa Wilson Masalu Musene awadde oludda oluwaabi wiiki emu yokka okuwayo obujulizi ku mukazi gwebalumiriza okutta bba n’abaana baabwe 2. Kino kiddiridde oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Doreen Erima okulemererwa okulabikako okulumiriza omukyala ono omulamuzi omusango n’agwongerayo okutuusa nga 26 September. […]

Esomero likutte omuliro e’ Masaka

Esomero likutte omuliro e’ Masaka

Bernard Kateregga

September 2nd, 2015

No comments

Entiisa ebutikidde abayizi n’abasomesa ku ssomero lya Modern Primary school mu Kabuga k’e Nyendo mu Masaka oluvanyuma lw’omuliro okukwata essomero lino negutta omuyizi omu wamu n’okusanyawo byabukadde. Omugenzi tannategerekeka naye nga kigambibwa abadde asoma kibiina kyakuna. Akulira poliisi enzinya mooto mu kitundu kino Bernard Ssembusi […]

TTabamiruka wa FDC e’ Namboole

TTabamiruka wa FDC e’ Namboole

Bernard Kateregga

September 2nd, 2015

No comments

Wabaddewo akavuyo ku kisaawe e Namboole nga abakungu b’e kibiina kya FDC betegekera ttabamiruka. Wabaddewo obutakkanya wakati wa poliisi n’abawagizi b’abyesimbyewo aba Maj. Gen. Mugisha Muntu ne Dr. Kiiza Besigye. Omudumizi wa poliisi ye Kiira Jacob Okullu akuliddemu ebyokwerinda ku kisaawe kino aweze ebintu byonna […]