Amawulire

Bosco Ntaganda agenda mu kkooti y’ensi yonna

Bosco Ntaganda agenda mu kkooti y’ensi yonna

Bernard Kateregga

September 2nd, 2015

No comments

File Photo: Bosco Ntaganda ngali nabasajja be

File Photo: Bosco Ntaganda ngali nabasajja be

Eyali omuyekera mu ggwanga lya Congo Bosco Ntaganda wakusimbibwa mu maaso ga kkooti y’ensi yonna ku misango gy’entalo.
Ku gimu ku misango gino kuliko egy’obutemu, okutwala abaana abato mu magye, okusobya ku bakyala n’emirala wabula nga ye bino byonna abyegaana.

Abantu abasoba mu 2000 abatusibwako ebikolobera bakkiriziddwa okugenda mu kkooti eno okuwa obujulizi okuli nebakadogo abatwalibwa mu ntalo nga bato ddala.

Ntaganda bamulumiriza okutta abantu abali eyo mu 800 wakati wa 2002 ne 2003.