Amawulire

Bana bafiiridde mu kabenje

Ali Mivule

September 19th, 2015

No comments

Abantu bana bafiiridde mu kabenje n’abalala 10 nebaddusibwa mu ddwaliro nga biwala ttaka. Kabenje kano kagudde ku kyaalo Kalembe ku luguudo oluva e Mityana okudda e Mubende Taxi namba UAW 780Q ebadde ejjudde abasaabaze eyabise omupiira n’egwa ekigwo. Atwala poliisi y’ebidduka e Mubende Johnson Yeheyo […]

Aba TDA bakyalemereddwa okukkaanya

Ali Mivule

September 19th, 2015

No comments

Abavuganya gavumenti wansi w’omukago gwa The Democratic Alliance baddamu okutuula leero okwongera okuteesa ku ky’okusimbawo omuntu omu. Kiddiridde abakulu bano okulemererwa okutuuka ku kyebabadde basuubira olunaku lwajjo. Abeesimbyeewo baasabye okwongerwa ku budde batuule bokka berondemu omuntu omu. Ng’ayogera eri bannamawulire ekiro kyajjo, akulira DP Norbert […]

Eby’okwerinda ku kisaawe Entebbe byakunyweera

Ali Mivule

September 19th, 2015

No comments

Gavumenti emalirizza enteekateeka ezigendereddwaamu okunyweza eby’okwerinda ku kisaawe Entebbe. Senkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura agambye nti gavumenti ng’eri wamu n’ekitongole ekikola ku byembuuka y’enyonyi yakuzimba ekifo ky’omulembe Entebbe nga kirimu buli kalonda akwata ku by’okwerinda . Kaihura agambye nti bakwataganye ne gavumenti ya Kenya […]

Nambooze yesimbye mu bazimba ebbaala

Ali Mivule

September 19th, 2015

No comments

Omubaka wa Munisipaali ye Mukono Betty Nambooze asimbidde ekkuuli eky’okuzimba ebbaala okumpi n’ekitebe kye Goma. Ono annenyezza nnyo tawuni kilaaka Innocent Ahimbisibwe okuwa bano olukusa okuzimba ebbaala ku ttaka awabadde wagenda okuzimbibwa eddwaliro nga liri mu ntekateeka. Ebbaala eno ezimbibwa wakati mu bukuumi bw’amaggye nga […]

Omubbi wa Boda bamusse

Ali Mivule

September 19th, 2015

No comments

Agambibwa okubeera omubbi wa bodaboda akubiddwa emiggo egimuttiddewo wali e Kayanja Namataba mu distulikiti ye Mukono. Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti omubbi ono omulambo gw’omusajja ono bakedde kugusanga mu kitundu. Abatuuze bagamba nti omusajja ono kiteekwa okuba nga bamuttidde walala nebamusuula e Kanyanja Omulambo gwe gutwaliddwa […]

Abali b’enguzi babakutte

Ali Mivule

September 19th, 2015

No comments

Abasirikale babiri bakwatiddwa lwa kulya nguzi okuva ku bantu ate beebabadde bakutte. Ayogerera poliisi mu kitundu kye Kyoka Juma Hassan Nyene abakwatiddwa abamenye nga Stephen Oselle ne Richard Obace. Abasirikale bano basabye Robert Okello emitwalo etaano okusobola okubayimbula. Bano balebuukana na misango gya ttaka Abasirikale […]

Omusajja alumyeko mukyalawe omumwa

Ali Mivule

September 18th, 2015

No comments

Omusajja alumyeko mukyala we omumwa bwamuteberezza nti yanyumizza akaboozi ne mulilwana. Jamir Kasirye omutuuze we Kawempe mizigo  munana yalumye Zaina Kulabako oluvanyuma lwokusanga mulilwana munyumba mulukubba olukedde okutonya. Kulabako atasobodde kwogera naffe wabula nga ebigambo abiwandiise ategezezza nga omwami we bwatasuzze wakka nga yamulesse mu […]

Museveni akubirizza abantu okukola duyiro

Ali Mivule

September 18th, 2015

No comments

  Pulezidenti Museveni asabye abantu bulijjo okukola dduyiro okwekuuma nga balamu bulungi Bw’abadde ayogerako eri abakungubagizi mu kusabira omwoyo gw’omugenzi Gen Aronda Nyakairima, pulezidenti agambye nti abantu bangi naddala abali mu bukulembeze tebafa ku bulamu bwaabwe ate nga tebawummula kimala. Ono agambye nti kyannaku nti […]

Laddu esse abaana 5

Ali Mivule

September 18th, 2015

No comments

Ekikangabwa kibuutikidde abayizi n’abasomesa saako nabazadde ku somero lya Kabyuuma pulayimale school laddu bw’ekubye abaana 5 nebafirawo. Abalala 20 baddusiddwa mu ddwaliro ekkulu e Mubende nga bali mu mbeerambi ddala. Okusinzira ku mukulu we somero lino John Basaaliza, laddu eno ejidde mu nkuba ebadde etonya […]

Omulambo gwa Gen Aronda guli ku palamenti

Omulambo gwa Gen Aronda guli ku palamenti

Ali Mivule

September 17th, 2015

No comments

Ssabadumizi w’amagye g’eggwanga Gen Katumba Wamala asambazze engambo ezibungesebwa ku kufa kwa Gen Aronda Nyakayirima. Nga ayogerako nebannamawulire Gen Katumba ategezezza nti ebiyitingana pokopoko agendereddwamu okuwabya abantu. Gen asabye bannayuganda balinde ekinayogerwa gavumenti ku nfa ya Gen Aronda bave mu kutebereza.   Era Gen Katumba […]