Amawulire

Munyagwa ayimbuddwa

Ali Mivule

September 21st, 2015

No comments

Meeya wa divizoni ye Kawempe Mubarak Munyagwa kyaddaaki ayimbuddwa

Munyagwa yakwatibwa n’aggalirwa poliisi ye Kabalagala oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti ono yajja ku mugagga Francis Kakumba obukadde 60 ng’amusuubizza nti wakukozesa ekifo kye okumulonda ng;akulira olukiiko lwa disitulikiti e Kawempe.

Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti munyagwa bamukozesezza sitatimenti , era nga kwebaggya okusinziira okunonyereza.

Enanga agamba nti munyagwa alina okudda ku poliisi mu wiiki emu.