Amawulire

Kyanjo yewozezzaako

Ali Mivule

September 22nd, 2015

No comments

Omubaka wa Makindye West Hussein Kyanjo yenyonyoddeko ku by’okusimbawo mutabani we okudda mu kifo kye oluvanyuma lw’okulangirira nti ye tadda.

Gyebuvuddeko Kyanjo y’alagayo mutabaniwe Farouk Kyanjo naye ow’ekibiina kya JEEMA nga agenda okumuddira mu bigere ku bukiise bwa Makindye West.

Kyanjo agamba y’asoose kwebuuza ku bakulu mu kitundu n’ekibiina kye nebakkanya asimbewo mutabaniwe.

Kyanjo yu’omu ku banabyabufuzi abazze bawakanya ebigambibwa nti pulezidenti Museveni ateekateeka mutabaniwe David Muhoozi okumuddira mu bigere.