Amawulire

Amateeka gakereeye nnyo- Kadaga

Ali Mivule

September 22nd, 2015

No comments

Omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Rebecca Kadaga mwenyamivu olwa gavumenti okulwawo okwanja amateeka g’ebyokulonda okukubaganyizibwako ebirowoozo.

 

Nga agulawo olutuula olw’enjawulo okuteesa ku tteeka ly’ebyokulonda, ategezezza nga bwebali mu kupakuka ku tteeka lino kale nga gavumenti esaanye obutanyooma mirimu gya palamenti.

 

Sipiika agambye ababaka mu kiseera kino bali mu kunonya kalulu kale nga okubayita okujja ate okuteesa kitataganya enteekateeka zabwe.

 

Ebigambo bya sipiika bididdwamu ababaka ba palamenti abalala abakulembeddwamu  Dr. Francis Epetait ategezezza nga amateeka gano bwegabadde gasaana okusooka okusindikibwa mu bukiiko bwa palamenti obw’enjawulo obukwatibwako wabula olw’obudde tekisoboka.

 

Ababaka era bakuteesa ku bisale ayagala okwesimbawo ku bwapulezidenti z’alina okusasula okuva ku bukadde 8 okutuuka ku bukadde bwa siringi 20.

 

Mu birala kwekulaba nga eyesimbyewo takuba kampeyini mu disitulikiti zonna nga bwekibadde nga n’okulonda baagala kukome ssaawa 10 ez’olweggulo.