Amawulire
Omulimi ayagala bwa pulezidenti
Abantu abakagyayo empapula z’okwesimbawo ku bwa pulezidenti baweze 49.
Amakya galeero Grace Musimani naye yegasse mu lwokaano lw’abayagala okuvuganya pulezidenti Museveni nga ye asuubizza okutumbula eby’obulimi.
Musimani ategezezza nti bangi bagyeyo empapula naye nga tawulira akoona ku kyakutumbula byabulimi kwekusalawo yesowoleyo.
Akakiiko k’ebyokulonda wiiki ewedde kayongezaayo nsalesale w’okuzzaayo empapula zino okuva nga 25 okutuuka nga 29 September.