Amawulire

Iran ekolokkose Saudi Arabia

Iran ekolokkose Saudi Arabia

Ali Mivule

October 1st, 2015

No comments

File Photo:Omukulembeze wa Saudi Arabia

File Photo:Omukulembeze wa Saudi Arabia

Eggwanga lya Iran litegeezezza nga bweryafiiriddwa abalamazi 464 mu kanyigo k’abalamazi mu ggwanga lya Saudi Arabia.

Ab’obuyinza mu ggwanga lino bagambye nti tebakyalina ssuubi lyakusanga munansi waabwe yenna ng’akyali mulamu kwabo bonna ababadde bakyabuze.

Okusinziira ku b’obuyinza mu ggwanga lya Saudi Arabia, abantu  769 baafiira mu kanyigo kano e Mina nga bbo 934 beebabuuka n’ebisago ebyamanyi.

Eggwanga lya Saudi Arabia likolokoteddwa ku ngeri gyeryakuttemu eby’okwerinda n’engeri eyakasoobo gyebabadde balangirira abantu abafudde n’abalumiziddwa.

Aba Iran bagamba Saudi Arabia erimba ku muwendo gw’abafudde nga basukka mu 1000 .

Omukulembeze wa Iran ow’okuntikko  Ayatollah Ali Khomeni  ayagala Saudi Arabia yetonde mangu.

Wabula ye minisita w’ensonga z’ebweru w’eggwanga mu bwakabaka bwa Saudi Arabia  Adel al-Jubeir alumiriza Iran okuteeka ebyobufuzi mu nsonga eno nga basanye okulinda ebinaava mu kunonyereza okwalagiddwa Kabaka Salman