Amawulire

Mbabazi avumye abamulumba- aba FDC baanukudde

Mbabazi avumye abamulumba- aba FDC baanukudde

Ali Mivule

September 29th, 2015

No comments

File Photo: Besigye Ekanya ne Muntu nga begeyamju

File Photo: Besigye Ekanya ne Muntu nga begeyamju

Eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi agamba nti abamulumiriza okugula ebibiina okumuwagira bamusibako matu ga mbuzi okumuliisa engo.

Kiddiridde ebibadde biyitingana nti Mbabazi yagulirira aba DP, aba Uganda Federal Alliance ne SDP okumuwagira ku ky’okukwata bendera y’omukago gw’abavuganya.

Mbabazi ng’awayaamu ne bannamawulire agambye nti aboogera bino beewussa era nga bannayuganda tebasaanye kubawuliriza

Bbo ab’ekibiina kya DP bongedde okulaga obumaliririvu bwaabwe okuwagira ssabaminisita Amama Mbabazi ku bwa pulezidenti.

Ekibiina kino kati kitandise okutunda Mbabazi okutuukira ddala ku mutendera gwa wansi okulab anti ba memba baabwe bonna bamanya eky’okukola.

Omwogezi wa DP Kenneth Kakande agambye nti wabaddewo okubuzabuuza ba memba nga bagaala bamanye eky’okukola

Kino kiddiridde DP n’ebibiina ebirala musanvu okusimba mu mugongo gwa Amama Mbabazi mu kulonda anaakwata bendera y’abavuganya mu kawefube w’okusimbawo omuntu omu eyagwa obutaka.

Bbo nno ababaka ba FDC bazizza omuliro ku ky’okuwagira Mbabazi.

Olunaku lwajjo ekibiina kya FDC kyayisizza okulabula eri ba memba abatinka ne Mbabazi okuli n’ababaka ba palamenti nti bajja kugobwa.

Kati omubaka Beatrice Anywar azizza omuliro ng’agamba nti wakiri okumugoba naye yye afiira ku Mbabazi kubanga akooye okuwagira Besigye atawangula.