Amawulire

Seya alondeddwa buto- bagaanye okumuwandiisa

Seya alondeddwa buto- bagaanye okumuwandiisa

Ali Mivule

September 29th, 2015

No comments

File Photo: Seya nga jjeyo foomu okwesimbawo mu 2016

File Photo: Seya nga jjeyo foomu okwesimbawo mu 2016

Akulira ekibiina kya Liberal Democratic Transparency Party Al-haji Nasser Ntege Ssebaggala azzeemu okuwangula entebe y’ekibiina kino wakati mu kuwakanyizibwa okuva eri ekibinja ekisimbira ekkuli obukulembeze bwe.

Sebaggala ayiseewo nga tavuganyiziddwa oluvanyuma lw’abadde amwesimbyeeko Mansoor Nera okuvaamu n’amulekera

Ssebaggala akozesezza akakisa kano okukyuusa akabonero k’ekibiina nga kati Mpungu era ng’engombo ye egamba nti lwaki ssinze.

Ono era alangiridde ebitundu bitaano kw’agenda okussa essira nga kuno kwekuli okutumbula eby’emisono by’emitwe mu kutondawo emirimu, ebyobulimu, okutumbula ebyenfuna era nga mu nteekateeka ye ssinga alya obukulembeze bw’eggwanga wakuwera ba RDC.

Sebaggala agambye nti mu ngeri yeemu wakussa amaanyi mu kukendeeza ensimbi eziweebwa abakozi ba gavumenti abangi ate ng’abamu tebetaagisa