Amawulire

Aba NRM bazzizzaayo foomu

Ali Mivule

September 29th, 2015

No comments

Ab’ekibiina kya NRM bazizzaayo foomu z’omuntu waabwe okusunsulwa okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga omwaka ogujja

Bano foomu bazitadde mu bi failo olwo nebabissa mu bikuleeti okulaga nti gibadde mingi ddala.

Omuwanika w’ekibiina kya NRM Rose Namayanja agamba nti bawaddeyo emikono egisoba mu mitwalo 60 okuva mu disitulikiti 112 ezikola Uganda.

Namayanja wano era w’asinzidde n’akakasa nti tewali kubuusabuusa ekibiina kya NRM kya bantu era kyakuwangula okulonda omwaka ogujja.

Abantu mukaaga beebakazzaayo foomu nga kuno kwekuli pulezidenti Museveni Dr Kiiza Besigye, Amama Mbabazi, Venasius Baryamureeba, ne Dr. Abed Bwanika.

Akakiiko kafundikidde omulimu gw’okufuna emikono nga kati abawandiisiddwa beebagenda okusunsulwa nga 5 ne mukaaga omwezi ogujja.