Amawulire

Teri besimbyeewo kufuna ssente- beebajja okuwaayo

Teri besimbyeewo kufuna ssente- beebajja okuwaayo

Ali Mivule

September 30th, 2015

No comments

File Photo: Omubaka Odonga Otto nga nyonyora

File Photo: Omubaka Odonga Otto nga nyonyora

Palamenti esazeewo nti teri kuddamu kuwa Muntu yenna yesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga yadde ekikumi.

Ekiteeso kino kireeteddwa omubaka we Aruu Odonga Otto era nekiwagirwa ababaka abawera.

Otto agambye nti omuntu yenna w’atuukira okwesimbawo ateekwa okuba ng’ensawo ye ewera kale nga tebalina kubajinya nti babakwasizzaako.

Mu kadde kano, omuntu yenna eyesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga awaayo obukadde munaana olwo yye n’afuna obukadde 20 okumuyamba okuwenja akalulu.

Mu ngeri yeemu abagaala okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga baakusasulanga obukadde busatu okwesimbawo

Wabula ababaka abakulembeddwaamu John ken Luyamuzi kibakiwakanyizza nga bagamba nti akalulu ssi ssente.

Wabula yye akulira abavuganya Wafula Oguttu agaanye okuwagira ekiteeso ekibadde kikoma ku besimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga okuyita mu buli disitulikiti nga bawenja akalulu.

Oguttu agambye nti gavumenti yeeyatondawo disitulikiti zino nga keekadde ekkirize nti buli emu ya mugaso.

Ababaka bagobye ekiteeso ky’okwongezaayo essaawa z’okufundikirirako okulonda okuva ku ssaawa kkumi n’emu okudda ku ssaawa kkumi.