Amawulire
Amagye galaalise abali ku mbalama
Bya Moses Kyeyune Omubaka wa Bukoto East e Masaka Florence Namayanja asabye palamenti okuyingira mu nsonga z’amagye ga UPDF agatandise okugobaganya abantu ku mbalama z’enyanja mu kitundu kyakiikirira mu palamenti. Namayanja agamba ebyalo 2 mu gombolola ye Buwunga bwaweereddwa ennaku 5 zokka okwamuka ettaka lino […]
Embalirira eruddewo
Bya Moses Kyeyune Amyuka Sipiika wa palamenti Jacob Oulanyah awadde akakiiko ka palamenti akakola ku byembalirira obutasukka lwaleero nga kamalirizza alipoota ku mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi 2017/2018 . Akakiiko kano olwo kalina okudda ku palamenti olunaku lw’enkya n’snsimbi ezirina okulabikira mu mbalirira. Yadde nga akakiiko kabadde […]
Cranes eyingidde enkambi
Bya Ali Mivule Ttiimu ya Uganda ya Cranes olwaleero lwetandika okutendekebwa nga bwesuzibwayo nga betegekera omupiira gw’okusunsulamu abanetaba mu za Africa e Cameroon mu 2019. Cranes yakomyewo okuva e Fortportal oluvanyuma lw’okukuba ttiimu ye Kitara enonderer 3-1. Omutendesi wa Cranes Micho Sredejovic agamba abazanyira kuno […]
Express ne KCCA bakuggwangana eggayangano
Bya Ali Mivule Express FC ne KCCA baddamu okwatika akawungeezi kaleero mu mupiira gw’okuddingana mu semi finals eza Uganda Cup. KCCA yawangula ogwasooka ku kisaawe kya Plillip Omondi e Lugogo 3-2. Omutendesi wa Express Matia Lule agamba goolo 2 zebateeba zilaga nti kiraabu ye esobolera […]
Abasiraamu balabuddwa ku bakijambiya
Bya Ali Mivule Nga abayisiraamu bakutte olunaku olwokuna nga basiiba , abaddu ba Allah bano balabuddwa okwegendeereza ku by’okwerinda byabwe nga bafuluma ekiro okugenda okusaala esswala ya tarawuya. Tarawuya esaalibwa ekiro oluvanyuma lw’esswala esembayo mu buli lunaku mu mwezi omutukuvu ogwa Ramadhan. Amyuka […]
Uganda ne Congo bateesa ku bya Nyanja
Akakiiko k’abantu 30 okuva wano mu Uganda ne Democratic republic of Congo bakumala ennaku 3 mu biundu bye Muhangi okugonjoola ani alina buvunanyizibwaki ku Nyanja ya Albert ne Edward. Aba Uganda bakulembeddwamu Amb. Paul Mukumbya omukungu wa Uganda mu mukago gwa East Africa wamu […]
Abalamazi bagudde ku kabenje
Bya Gertrude Mutyaba Abalamazi abawerera ddala 45 bafunye akabenje bus eyekika kya Falcon ebadde eva e Tanzania okudda e Namugongo bweremeredde omugoba waayo naajikubawo e kigo ku luguudo lw’eMasaka-Kyotera. Abalamazi abawerera ddala 27 beebalumiziddwa nga bano babadde mu bus ey’ekika kya Falcon namba T967-BTA. Afande […]
Mafabi ayagala kusuuza Gen.Mugisha Muntu ntebe
Bya Damali Mukhaye Nga ekisanja kya Gen Mugisha Muntu ekisooka kinatera okuggwako mu November 2017, abantu abalala 2 besowoddeyo okumuvuganya mu kiddako. Bano kuliko ssabawandiisi w’ekibiina kino Nathan Nandala Mafabi n’eyali omubaka wa palamenti Amuliat Oboi Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina e Najjanakumbi, […]
Poliisi yerinze abatujju
Bya Sam Ssebuliba Nga ensi yonna yetegekera okukuza olunaku lw’abajulizi wiiki ejja, poliisi yakuno eyongedde okunyweza ebyokwerinda wakati mu kusoomozebwa okwamanyi okuva eri abatujju. Poliisi yakuno okwongera okwenyweza nga abantu 23 kyebajje bafiire mu bulumbaganyi bw’ekitujju obwbadde mu kibuga Manchester mu ggwanga lya Bungereza. Nga […]
Aba NRM e Kamwenge batiisizza
Mu disitulikiti ye Kamwenge abamu ku babaka ba palamenti batandise okukumakuma abawagizi b’ekibiina baleme kukyabulira oluvanyuma lw’amawulire g’okutulugunya meeya waabwe Geofrey Byamukama. Omubaka omukyala owa disitulikiti eno Dorothy Nsheija Kabarisya n’owe ssaza lye Kibale Cuthbert Abigaba Mirembe bebazze mu balonzi okubawooyawooya olw’abamu okwecanga […]