Amawulire

Amagye galaalise abali ku mbalama

Ali Mivule

May 30th, 2017

No comments

Bya Moses Kyeyune

Omubaka wa Bukoto East e Masaka  Florence Namayanja asabye palamenti okuyingira mu nsonga z’amagye ga UPDF agatandise okugobaganya abantu ku mbalama z’enyanja mu kitundu kyakiikirira mu palamenti.

Namayanja agamba ebyalo 2 mu gombolola ye Buwunga bwaweereddwa ennaku 5 zokka okwamuka ettaka lino ky’agamba nti ssikyabwenkanya.

Namayanja agamba nti amagye gameya mateeka okutaataganya abantu abali mu ddembe lyabwe.

Bino webijidde nga ebikolwa by’okugobaganya abantu ku ttaka byeyongera buli lukya.