Amawulire

Express ne KCCA bakuggwangana eggayangano

Ali Mivule

May 30th, 2017

No comments

Bya Ali Mivule

Express FC ne  KCCA baddamu okwatika akawungeezi kaleero mu mupiira gw’okuddingana mu semi finals eza Uganda Cup.

KCCA yawangula ogwasooka ku kisaawe kya Plillip Omondi e Lugogo 3-2.

Omutendesi wa Express Matia Lule agamba goolo 2 zebateeba zilaga nti kiraabu ye esobolera ddala okweyongerayo ku semi finals .

Ye owa KCCA Mike Mutebi agamba baakulumba okuviira ddala ku ddenge erisooka okulaba nga bayitawo.

Anawangula wakati w’ababiri banob wakukwatagana ne  Paidha Black Angels abagyemu Sadolin ku semi finals.