Amawulire

Poliisi yerinze abatujju

Ali Mivule

May 29th, 2017

No comments

Bya Sam Ssebuliba

Nga ensi yonna yetegekera okukuza olunaku lw’abajulizi wiiki ejja, poliisi yakuno eyongedde okunyweza ebyokwerinda wakati mu kusoomozebwa okwamanyi okuva eri abatujju.

Poliisi yakuno okwongera okwenyweza nga abantu 23 kyebajje bafiire mu bulumbaganyi bw’ekitujju obwbadde mu kibuga Manchester mu ggwanga lya Bungereza.

Nga ayogerako eri bannamawulire olwaleero, omwogezi wa poliisi mu ggwanga Assan Kasingye ategezezza nti basuubira abantu abasoba mu bukadde 2 kale nga ebyokwerinda bisanye okubeera gguluggulu.

Kasingye agamba nti nga ogyeko okuyungula abawanvu n’abampi, bataddewo na layini z’essimu ezenjawulo omuntu kwalina okukubira poliisi nga alina gweyekengedde e Namugongo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *