Amawulire

Mafabi ayagala kusuuza Gen.Mugisha Muntu ntebe

Ali Mivule

May 29th, 2017

No comments

Bya Damali Mukhaye

Nga ekisanja kya Gen Mugisha Muntu ekisooka kinatera okuggwako mu November 2017, abantu abalala 2 besowoddeyo okumuvuganya mu kiddako.

Bano kuliko ssabawandiisi w’ekibiina kino Nathan Nandala Mafabi n’eyali omubaka wa palamenti Amuliat Oboi

Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina e Najjanakumbi, amyuka omwogezi wa w’ekibiina Paul mwiru ategezezza nti n’abalala abaagala ekifo kino nga balina ebisanyizo baddembe okugyayo empapula.

Agamba olukiiko lw’ekibiina lwakutuula okuva nga  16-17 June okuteesa ku bigenda okugobererwa mu kulonda.