Amawulire

Abayunivasite ye Kyambogo bakyediimye

Ali Mivule

June 2nd, 2017

No comments

  Ak’ediimo k’abasomesa ba yunivasite ye Kyambogo kayingidde olunaku olwokusatu era nebalabula nti ssibakudda ku mirimu okutuusa nga omusaala gwabwe ogwemabega gusasuddwa. Abasomesa abasoba mu 700 ku lwokubiri baateeka wansi ebikola nga bagamba babanajayo okuva mu January okutuusizza ddala mu April ensimbi eziri eyo mu […]

Abasuubuzi bakalakaasa lwa bisale

Ali Mivule

June 1st, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa Abasuubuzi ku kizimbe kya Miniprice bagaddewo amaduuka gaabwe nga bawakanya eky’okubongeza ez’obupangisa. Bano balumiriza landiloodi waabwe omupya Drake Lubega okubabinika ebisale byebatasobola kwekusalawo okwegugunga. Abasuubuzi batutegezezza nti Lubega ekizimbe yakiguze okuva ku munne John Ssebalamu n’abongeza n’ebitundu 40% kyebatagenda kukkiriza. Bano baweze […]

Micho ayungudde

Ali Mivule

June 1st, 2017

No comments

Bya Ali Mivule Omutendesi wa ttiimu y’eggwanga  Micho Sredejovic ayungudde ttiimu kabiriiti egenda okuttunka n’eggwanga lya Cape Verde n’okuzanya emipiira gy’omukwano. Mu bano kuliko abakwaasi ba goolo 2, abazibizi 5, abawuwuttanyi 6 n’abateebi 5. Abaalondeddwa kuliko  Ismail Watenga, Murshi Juuko, Khalid Aucho, Farouk Miya n’abalala […]

Owa boda bamutemyetemye

Ali Mivule

June 1st, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa Ate abadde yakagula pikipiki nga asaaliza bavubuka banne mubitundu bye Mubende  takyagadde  bwatemeddwa  ejambiya kumutwe olulimi nelufuluma. Robert  Magala mukiseera kino tasobola kwogera olwokuba olulimu lwafulumye nga n’embeera ye yelarikirizza olwokuba yavuddemu  omusaayi munji sso nga n’abantu bbe babadde tebanajja. Ono yaletedwa […]

Abasiraamu bakujjukira abajulizi baabwe

Ali Mivule

June 1st, 2017

No comments

  Olwaleero abayisiraamu lwebajjukira abajjulizi baabwe abatibwa ku bitagiro bya ssekabaka Mwanga ku muzikiti gwe Namugongo. Omukwanaganya w’emikolo gy’abasiraamu okujjukira abajulizi Hajj Suleiman Musana agamba abasiraamu nga 74 beebatibwa nebanaabwe abakulisitu 45. Agamba mpaawo kimanyiddwa nyo ku bajulizi bano abasiraamu wabula abasiraamu ku lunaku luno […]

Palamenti eyisizza embalirira ya buwumbi 29000

Ali Mivule

June 1st, 2017

No comments

Bya Moses Kyeyune Palamenti akawungeezi akayise yayisizza embalirira yabutabalika 29 bwebuwumbi 29000 okusobola okutuukiriza nsalessale wa nga May 31 nga bwekilambikiddwa mu mateeka. Akatabalika kamu n’ekitundu kakugenda eri eby’okwerinda, ebyenjigiriza bifunye obutabalika bubiri n’ekitundu sso nga ebyenguudo neera byebisinze okufuna ensimbi bwebyaweereddwa obutabalika buna n’ekitundu. […]

Ayiiridde omuserikale amazzi agookya

Ali Mivule

May 31st, 2017

No comments

Bya Damali Mukhaye Poliisi ye Jinja eriko omukazi ow’emyaka 33 gwekutte lwakuyiira omuserikale abadde agenze okumukwata amazzi agookya. Omukwate ategerekese nga  Fazira Nangobi  omutuuze ku kyalo  Budumbiri mu tawuni kanso ye  Bugembe . Atwala poliisi ye Bugembe Sam Talemwa agamba omukazi ono ayiiridde Mebra Mpabulungi owa […]

Omugenzi Lawrence Mukiibi bamusabidde

Ali Mivule

May 31st, 2017

No comments

Bya Damali Mukhaye Okusabira omwoyo gw’omugenzi munnabyanjigiriza Lawrence Mukiibi asabiddwa wali  ku lutikko e Rubaga. Mukomukulembeze w’eggwanga  nga era ye minisita w’ebyenjigiriza Janet Museveni yetabye  mu kusabira omugenzi. Emmisa ekulemebeddwamu Emmanuel kaliddinaali Wamala . Mungeri yeemu bbyo eby’okwerinda ku lutikko binywezeddwa nga era abagenyi abayite bebokka […]

Abalunzi b’ebyenyanja balabuddwa

Ali Mivule

May 31st, 2017

No comments

  Abakulira eby’obuvubi mu minisitule y’ebyobulimi balabudde abalunzi b’ebyenyanja ku kirwadde ekitandise okusenkenya engege . Bano okuvaawo nga ekirwadde kino gyekijje kisaasanire mu mawanga nga Equador, Colombia, Thailand ne misiri. Akulira eby’obuvubi mu minisitule y’ebyobulimi owekiseera Dr Edward Rukuunya agamba okuva bwekiri nti misiri nayo […]

Abalamazi basiibuddwa

Ali Mivule

May 31st, 2017

No comments

Bya Gertrude Mutyaba Abalamazi okuva e Tanzania abaafunye akabenje olunaku olweggulo basiibuddwa okuva mu ddwaliro e Masaka nebeeyongerayo e Namugongo. Okusinziira ku mukwanaganya w’emirimu mu ddwaliro ekkulu e Masaka Ereazer Mugisha agamba nti baakoze ekisobika okuwa obujanjabi abalamazi bano olw’obwetaavu bwebaabadde nabwo obw’okugenda okujjukira eyali […]