Amawulire

Abasuubuzi bakalakaasa lwa bisale

Ali Mivule

June 1st, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Abasuubuzi ku kizimbe kya Miniprice bagaddewo amaduuka gaabwe nga bawakanya eky’okubongeza ez’obupangisa.

Bano balumiriza landiloodi waabwe omupya Drake Lubega okubabinika ebisale byebatasobola kwekusalawo okwegugunga.

Abasuubuzi batutegezezza nti Lubega ekizimbe yakiguze okuva ku munne John Ssebalamu n’abongeza n’ebitundu 40% kyebatagenda kukkiriza.

Bano baweze obutaggulawo okutuusa nga ssente zizzeeyo nga bwezibadde.

Wabula poliisi nga ekulembeddwamu OC wa Mini price Fabian Baryayamba eyiiriddwa okwewala efujjo lyonna.

Baryayamba asabye abasuubuzi okusigala nga bakkakamu nga enteeseganya bwezigenda mu maaso.