Amawulire

Palamenti eyisizza embalirira ya buwumbi 29000

Ali Mivule

June 1st, 2017

No comments

Bya Moses Kyeyune

Palamenti akawungeezi akayise yayisizza embalirira yabutabalika 29 bwebuwumbi 29000 okusobola okutuukiriza nsalessale wa nga May 31 nga bwekilambikiddwa mu mateeka.

Akatabalika kamu n’ekitundu kakugenda eri eby’okwerinda, ebyenjigiriza bifunye obutabalika bubiri n’ekitundu sso nga ebyenguudo neera byebisinze okufuna ensimbi bwebyaweereddwa obutabalika buna n’ekitundu.

Eby’obulimi byo byaweereddwa obuwumbi  863 ate amazzi n’obutonde bw’ensi byafunye obuwumbi 595.8 .

Amaka g’omukulembeze w’eggwanga gaafunye obuwumbi 245.5 ate ofiisi ya pulezidenti obuwumbi 123.9 .

Embalirira eyenkomeredde yakusomerwa eri eggwanga nga jube 8 wali ku the International Conference Center.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *