Amawulire

Ensigo z’embala tezikugirwa

Ensigo z’embala tezikugirwa

Ali Mivule

July 30th, 2015

No comments

Waliwo ekibinja ky’abalimi abaddukidde mu kkooti nga bawakanya ebbago ly’etteeka erisaawo abantu ssekinoomu abagenda okukuuma ensigo z’embala. Abalimi bano bawagiddwa ebibiina by’obwanakyeewa ebigambi nti ensigo z’embala tezirina kussibwaako lukomera lwonna. Omukungu okuva mu kibiina kya Food Rights Alliance Gonzanga Mbalangu agamba nti kino kikyaamu kubanga […]

Ab’omukago batandise okutabaganya abatalima kambugu

Ab’omukago batandise okutabaganya abatalima kambugu

Ali Mivule

July 30th, 2015

No comments

Ab’omukago gwa The Democratic Alliance batonzeewo akakiiko akagenda okutabaganya ba memba abatalima kambugu mu bibiina ebiri mu mukago guno. Kino kiddiridde ekibiina kya DP okuyulikamu nga kati waliwo ekibinja kya Loodimeeya Erias Lukwago ekyagala okwesogga omukago n’ekya Norbert Mao nga nakyo kyetaaga okubeera mu mukago. […]

Byandala bamukutte bubi- Minisita

Byandala bamukutte bubi- Minisita

Ali Mivule

July 30th, 2015

No comments

Minisita w’eby’enguudo  n’entambula Eng John Byabagambi kyaddaaki avuddemu omwaasi ku kukwatibwa kwa munne gweyaddira mu bigere Abraham Byandala. Byabagambi agambye nti yadde nga Byandaala ayinza okuba ng’alina omusango, kyabadde kikyaamu okumala gamukwata nga sipiika wa palamenti tategezeddwa yadde omukulembeze w’eggwanga amulinako obuvunaanyizibwa nga minisita Byabagambi […]

Eyatega bbomu wakuwanikibwa ku kalabba

Eyatega bbomu wakuwanikibwa ku kalabba

Ali Mivule

July 30th, 2015

No comments

Mu ggwanga lya Buyindi omusajja eyatega bbomu mu kibuga Mumbai nezitta abawerako awanikiddwa ku kalabba. Yakub Memon omusango gw’okutega bbomu mu 1993 gwamukka mu vvi olw’abantu 257 abafiira mu bulumbaganyi buno. Eggwanga lya Buyindi lirwawo okuwanika abantu ku kalabba nga abantu 3 bokka bebakawanikibwa ku […]

Basatu bakwatiddwa

Basatu bakwatiddwa

Ali Mivule

July 30th, 2015

No comments

Poliisi ye  Malongo mu disitulikiti ye  Lwengo eriko abantu 3 bekutte ku by’okutibwa kw’omusajja ow’emyaka 24.   Abakwate bategerekese nga Mathias Nsubuga , Robert Kalanda  ne  Flavia Namuddu oluvanyuma lw’omugenzi ategerekese nga Bukenya okutibwa.   Okunonyereza okusoose kulaze nga bano bwebasemba okulabibwako n’omugenzi nga omulambo […]

Ab’omukago bafunye wofiisi

Ab’omukago bafunye wofiisi

Ali Mivule

July 30th, 2015

No comments

Ab’omukago gw’abebibiina ebivuganya gavumenti ogwa Democratic alliance bategezezza nga bwebatalubirira kutwala buyinza kyokka, wabula n’okukulembera eggwanga oluvanyuma lw’okulonda kwa 2016. Kino kibikuddwa ssentebe w’omukago guno Prof. Fredrick Ssempebwa mu kutongoza ofiisi z’omukago wamu n’okutondawo obukiiko obugenda okutambuza omukago guno. Obumu ku bukiiko buno kuliko akateesiteesi  […]

Abakozi mu kinyara beedimye

Abakozi mu kinyara beedimye

Ali Mivule

July 30th, 2015

No comments

Abakozi b’ekkolero lya sukaali erya  Kinyara sugar Works Ltd abasoba mu 600 bekalakaasizza lwambeera mbi mwebakolera.   Abatema ebikajjo n’abakozi abalala bategezezza nga abakulira ekkolero lino bwebatafa ku byabulamu byabwe, omusaala mutono ddala sso nga n’amabaluwa agabakakasa ku mirimu tegakolebwangako.   Aduumira poliisi mu bitundu […]

Akalulu kakulondoolwa

Ali Mivule

July 30th, 2015

No comments

Akakiiko akalwanirira eddembe ly’obuntu mu ggwanga katandikiddewo okwetegekera okulonda kwa 2016. Akulira akakiiko kano e Gulu Rose Atim  ategezezza nga bwebataddewo ekifo ewali abantu abatendeke abagenda okulondoola okulonda kwonna okwetolola eggwanga Bano batendekeddwa ettendekero erisomea ku dembe ly’obuntu okuva e Kenya oluvanyuma lw’obuvuyo obwali e […]

KIgongo awera- okuzzaayo foomu kwakutandika

Ali Mivule

July 30th, 2015

No comments

Amyuka ssentebe w’ekibiina kya NRM mu ggwanga  Alhajji Moses Kigongo ategezezza nga bwali omwetegefu okuvuganya n’omuntu yenna ayagala okumwesimbako. Kigongo ategezezza nga bw’akyalina embavu ku kifo kino nga era wakugenda mu maaso n’okuwereza. Ye  sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga yagyeyo foomu z’okwesimbawo ku bw’amyuka ssentebe […]

Nambooze atabuse ku bifo ebipya

Nambooze atabuse ku bifo ebipya

Ali Mivule

July 29th, 2015

No comments

Akakiiko ka palamenti aka gavumenti ez’ebitundu kakwanja alipoota yaako ku ky’okutondawo amasaza amapya 39. Nga ayogerako ne bannamawulire nga betegekera okwanja ebbago ku bifo bino , minisita wa gavumenti ez’ebitundu mu gavumenti y’ekisikirize Betty Nambooze ategezezza nga bw’agenda okuwakanya engeri enteekateeka yonna gyekwatiddwamu kubanga teyafunye […]