Amawulire
Poliisi eyingidde mu nkayaana z’ettaka
Oluvanyuma lw’abatuuze abasoba mu 1500 okuva mu byalo 5 okwekubira enduulu ku kibba ttaka mu disitulikiti ye Kalungu, ekitongole kya poliisi eky’ebyettaka kibiyingiddemu. Ebyalo ebikukuluma kuliko Kikonda, Natitta, Kawule, Lwenswera ne Kawembero . Kino kiddiridde nanyini ttaka Samuel Kasule okugaana okutwala obusuulu bw’abali ku […]
Temutunda kalulu- Sekaggya
Eyali akulira akakiiko akalwanirira edembe ly’obuntu Margret Ssekajja asabye bannayuganda okwewala okutunda obululu bwabwe wamu n’okulonda bannabyabufuzi ababagulirira n’obutole bwa Sabuni. Ssekajja agambye nti okulonda okuzze kubeerawo mu ggwanga kujuddemu kugulirira abalonzi, ekiviiramu okulonda abantu abatalina mugaso eri eggwanga. Ssekajja asabye abantu okubuuza bannabyabufuzi kyebabakoledde […]
NRM efe ku bakyala- Kabanda
Abakulembeze mu kibiina kya NRM basabiddwa okulaba nga bannakibiina bakiikirirwa kyenkanyi naddala ku lukiiko olw’okuntiko mu kibiina. Omubaka wa pulezidenti mu Kampala era nga yesimbyewo ku bu myuka bwa Ssentebe w’ekibiina kya NRM mu Buganda Aisha Kabanda agambye nti abakyala tebafunye kukiikirirwa kumala naddala ku […]
Besigye asimattuse akabenje
Eyali Ssenkagale wa FDC Dr Kiiza Besigye asumattuse akabenje bw’abadde agenda e Hoima okuwenja obululu okuva mu bannakibiina kya FDC. Akabenje kano akafunidde Kyankwanzi omupiira gw’emmotoka ye negusiriira. Besigye abadde atambulira mu motoka ekika kya Land cruiser namba UAN 661V era agamba nti akabenja kano […]
Museveni aweze- Tujjja Kuwangula
Pulezidenti Museveni ajjeeyo foomu okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga olunaku lwaleero n’asuubiza okutwala eggwanga mu maaso. Pulezidenti abadde awerekeddwaako ba minisita, ababaka mu palamenti kko ne bannakibiina abatali bamu agambye nti ekimu ku bituukiddwaako kwekutuusa emirembe mu bitundu byonna. Museveni agambye nti musanyufu nti era eggwanga […]
Abayudaaya bwokeeza enyumba kitundu kya West Bank.
Waliwo abayudaaya bakalittima abatekedde enyumba omuliro nga mulimu omwana omuwere. Omwana myezi ono nga munaansi w’eggwanga lya Palestine y’afiiridde mu muliro guno oluvanyuma lwabakalittima bano okuteekera enyumba mw’abadde omuliro mu kitundu kya West Bank. Bino byonna bibadde ku kyalo Kfar Douma kumpi n’ekibuga Nablus […]
Poliisi esaanyizaawo enjaga ya bukadde.
Poliisi mu district y’e Kyegegwa eriko enjaga ebaliirirwamu obukadde bwa silingi butaano gyesaanyizaawo. Omudumuduumizi wa Poliisi Kisembo Musa enjaga eno ekwatiddwa mu maka g’omutuuze ategerekese nga Byakatonda Robert gyabadde alimira awakawe. Omusasi waffe Magembe Sabiiti y’alina ebisingawo
Ssabasajja Kabaka wa Buganda atuuse e Kalangala
Ssabasajja asimbudde okuva ku lubiri lwe e Bujumba mu sazza e Sssese era nga ayaniriziddwa Kamala Byonna wa Buganda oweek Charles Peter Mayiga, Maama Nabagereka Sylvia Naginda, ba Minister ba Buganda, Kweba Fr Christopher Walusimbi awamu n’abalala bangi abamazze okutuuka mu kiffo ewali emikolo gino. […]
Mbabazi alangiridde
Eyali ssabaminisita w’eggwanga Johh Patrick Amama Mbabazi alangiridde nga bw’agenda okwesimbawo nga atalina kibiina ku bwa pulezidenti mu kulonda okujja. Ategezezza nga bwatagenda kugenda Kyaddondo kugyayo mpapula zakusunsulibwa kubanga takyazirabamu mugaso. Mbabazi agamba agezezzaako okuyita mu makubo gonna okuyita mu mateeka okutuuka mu kamyufu naye […]
Abasoba mu 2000 bajjeeyo foomu
Bannakibiina kya NRM abasoba mu 2000 beebakajjayo foomu okwesimbawo ku bifo ebitali bimu Ku bano 1550 besimbyeewo okukiika mu palamenti , 410 bagaala bifo bya bakyala ate ng aba ssentebe bali 169. Ssentebe w’akakiiko ka NRM akalondesa Dr Tanga Odoi agambye nti obuwumbi busatu n’ekitundu […]