Amawulire

Abayudaaya bwokeeza enyumba  kitundu kya West Bank.

Abayudaaya bwokeeza enyumba kitundu kya West Bank.

rmuyimba

July 31st, 2015

No comments

 

Waliwo abayudaaya bakalittima abatekedde enyumba omuliro nga mulimu omwana omuwere.
Omwana myezi ono nga munaansi w’eggwanga lya Palestine y’afiiridde mu muliro guno oluvanyuma lwabakalittima bano okuteekera enyumba mw’abadde omuliro mu kitundu kya West Bank.
Bino byonna bibadde ku kyalo Kfar Douma kumpi n’ekibuga Nablus nga era omwana ono y’abadde yebase webamukumiddeko omuliro.
Bbo bazadde be babuuse n’ebisago by’omuliro ebyamanyi nga n’abenganda ze abalala nabo baalumiziddwa.