Amawulire

Ababba obupande ku nguudo beebaleese obubenje

Ababba obupande ku nguudo beebaleese obubenje

Ali Mivule

August 3rd, 2015

No comments

Pulezidenti Museveni agamba nti obubenje obutaggwa ku makubo buvudde ku bantu ababba obupande bw’oku nguudo Abadde aggulawo oluguudo lwa Nyakahita-Kazo olwazimbiddwa ku buwumbi 140. Pulezidenti Museveni agambye nti obupande buno buyamba okulambika abakozesa enguudo nga buli lwebutabaawo , kivaamu obubenje. Okusinziira ku alipoota ezizze zikolebwa […]

Mbabazi wakukola enteekateeka empya

Mbabazi wakukola enteekateeka empya

Ali Mivule

August 3rd, 2015

No comments

Eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi wakuddamu okukola enteekateeka empya okusisinkana abalonzi n’ekigendererwa ky’okubebuzaako ku nteekateeka ze ez’okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga. Kiddiridde Mbabazi okukirambika nti wakwesimbawo nga tasinzidde mu kibiina kya NRM kubanga kyassaawo obukwakkulizo bungi n’ekigendererwa ky’okumulemesa Munnamateeka we Fred Muwema agambye nti kati bakuddamu […]

Abasomesa bazzeemu okutabuka

Abasomesa bazzeemu okutabuka

Ali Mivule

August 3rd, 2015

No comments

Abasomesa wansi w’ekibiina ekibagatta ekya Uganda National Teachers Union UNATU bakanze nga bwebaggya okuddamu okussa wansi ebikola lwa gavumenti butabawa nsimbi zaabwe ez’okwekulakulanya. Ssabawandiisi w’ekibiina ekigatta abasomesa James Tweheyo agambye nti aba minisitule baali balina okubawaayo obuwumbi 10 ng’omwezi gw’omukaaga tegunnaba kuggwaako kyokka nga kyenyamiza […]

Abakozi bassizza wansi ebikola

Ali Mivule

August 3rd, 2015

No comments

Abakozi abatakola gwa busomesa mu matendekero aga waggulu aga gavumenti bassizza wansi ebikola. Abakozi bano abasoba mu 4000 batandise leero obutakola nga bagaala kwongerwa ku musaala Abakozi abatadde wansi ebikola ba ttendekero lye Kyambogo ne Makerere era ng’ekikolwa kyaabwe kisanyalazza emirimu. Abamu ku beediimye kuliko […]

Ssabasajja yenyamidde olw’ettemu

Ssabasajja yenyamidde olw’ettemu

Ali Mivule

August 3rd, 2015

No comments

Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda 11 alaze obwenyamivu olw’ettemu erisusse naddala mu baana abato. Bw’abadde aggulawo olukiiko lwa Buganda, omutanda agambye nti ettemu lino lireseewo okutya kungi eri abazadde era n’asaba abaami be ku byalo, abakulembeze abalala wamu ne poliisi okukwatiza awamu okulwanyisa ebikolwa […]

Abakozi mu Kinyara bakyekalakaasa

Abakozi mu Kinyara bakyekalakaasa

Ali Mivule

August 3rd, 2015

No comments

Olukiiko lukyagenda mu maaso okutema empenda butya okwekalakaasa kw’abakozi b’ekkolero lya sukaali erya Kinyara okwakamala kati ennaku eziwerako  bwekusobola okukomekkerezebwa. Ku lwokubiri lwa wiiki ewedde abakozi abasoba mu  800 bateeka wansi ebikola nga bemulugunya ku mbeera embi mwebakolera nga kwotadde emisaala emitono gyabasasulwa. Ssentebe w’ekibiina […]

Kiyonga alumbye Mbabazi- oli munnanfuusi

Kiyonga alumbye Mbabazi- oli munnanfuusi

Ali Mivule

August 3rd, 2015

No comments

  Minisita w’ebyokwerinda Dr. Crispus Kiyonga alumirizza eyali ssabaminisita w’eggwanga  Amama Mbabazi okubuzabuza bannayuganda. Mu kusonda ensimbi ku ekeleziya ye Namwendya mu disitulikiti ye  Tororo , Dr. Kiyonga yategezezza nga Mbabazi bw’atalina lukusa kuvumirira gavumenti gy’akoledde ebbanga eddene. Kiyonga yasabye abatuuze obutakolagana na bantu nga […]

Minisita Byandala ayimbuddwa

Minisita Byandala ayimbuddwa

Ali Mivule

August 3rd, 2015

No comments

Eyali minsita w’ebyentambula n’emirimu nga kati talina mulimu gwankalakalira  Abraham Byandaala ayimbuddwa. Omulamuzi wa kkooti ewozesa abakenuzi  Julius Borore alagidde  Byandala nebanne abalala mukaaga okusasula obukadde kkumi buli omu n’okuwayo paasipooti zaabwe okusobola okweyimirirwa. Ye omusuubuzi  Apollo Senkeeto ebibye bikyali bizibu anti kkooti emulagide aleete […]

Omubbi w’embuzi kata bamwokye

Omubbi w’embuzi kata bamwokye

Ali Mivule

August 3rd, 2015

No comments

Abatuuze mu kabuga ke Nasuuti e Mukono bakkakkanye ku mubbi wembuzi nebamukuba emiggo nebamuyiira amafuta nga bagala kumwokya wabula poliisi nemutaasa. Omusajja ono atategerekese abadde  ne banne basatu nga kigambibwa nti babbye embuzi ssatu okuva ku kyalo Naalya mu gombolola ye Nama nebaazikweka mu kamotoka […]

Baziikudde entaana

Ali Mivule

August 3rd, 2015

No comments

Abatuuze ku kyalo Lwanyonyi  mu gmbolola ye Nama mu district ye Mukono bawunikiridde bwebagudde ku ntaana eyazikuddwa nga keesi nebisigalira byatwaliddwa abantu abatanategerekeka. Omugenzi ategerekese nga Nyayiti nga kigambibwa yazikibwa mu poloti ya mutabani we wabula nga mu kiseera kino waliwo enkayaana ku ttaka lino […]